1Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ngʼatuma malayika we eri omuweereza we Yokaana
2eyategeeza ekigambo kya Katonda nʼobujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba.
3Alina omukisa oyo asoma nʼabo abawulira ebigambo byʼobunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.
4Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.
5era nʼokuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era yʼafuga bakabaka abʼomu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe nʼomusaayi gwe,
6nʼatufuula obwakabaka bwʼobwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa nʼobuyinza bibeerenga eri oyo emirembe nʼemirembe. Amiina.
7
8
9Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olwʼekigambo kya Katonda era nʼokujulira ebya Yesu.
10Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,
11nga ligamba nti,
12Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo byʼettaala ebya zaabu musanvu.
13Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu
14Omutwe gwe nʼenviiri ze byali byeru ngʼebyoya byʼendiga ebyeru, era nga bifaanana ngʼomuzira, nʼamaaso ge nga gali ngʼennimi zʼomuliro.
15Ebigere bye byali ngʼekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro nʼeddoboozi lye nga liyira ngʼamazzi amangi.
16Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ngʼalina ekitala ekyogi ekyʼobwogi obubiri
17Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ngʼafudde, kyokka ye nʼanteekako omukono gwe ogwa ddyo nʼaŋŋamba nti,
18
19
20