Okubikkulirwa 10:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Ne ndaba malayika omulala owʼamaanyi ngʼakka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ngʼayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ngʼenjuba ate ebigere bye nga byaka ngʼomuliro.

2Yali alina mu ngalo ze omuzingo gwʼekitabo omutono ngʼagwanjuluzza, nʼateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono nʼakiteeka ku lukalu.

3Nʼaleekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nga liri ngʼokuwuluguma kwʼempologoma. Ne wabaawo nʼokubwatuka kwa mirundi musanvu olwʼeddoboozi eryo.

4Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali nʼatera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”

5Awo malayika gwe nalaba ngʼayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu nʼayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,

6nʼalayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu nʼebintu byonna ebirimu, nʼatonda nʼensi nʼebintu byonna ebigirimu, nʼatonda nʼennyanja ne byonna ebigirimu, ngʼagamba nti, “Tewaliba kulwa nate.

7Naye mu nnaku ezʼeddoboozi lya malayika owʼomusanvu, bwʼaliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”

8Eddoboozi lye nawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gwʼekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”

9Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gwʼekitabo ogwo omutono. Nʼaŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ngʼomubisi gwʼenjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.”

10Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ngʼomubisi gwʼenjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange.

11Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, nʼensi, nʼennimi ne bakabaka bangi.”

e>