Okubikkulirwa 11:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1Ne mpeebwa olumuli oluli ngʼomuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda nʼekyoto nʼabo abasinziza mu Yeekaalu.

2Naye oluggya olwʼebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42).

3Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebikutiya ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).”

4Abajulirwa abo ababiri gyʼemiti emizeeyituuni ebiri era ettabaaza ebbiri, abayimirira mu maaso ga Mukama owʼensi yonna.

5Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe nʼomuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bwʼayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.

6Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba nʼetetonnya mu nnaku ezʼobunnabbi bwabwe, era balina nʼobuyinza okufuula amazzi omusaayi nʼokuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.

7Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte nʼokubawangula ebawangule.

8Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo zʼekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo

9Era okumala ennaku ssatu nʼekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu nʼebika, nʼennimi, nʼamawanga mu nguudo zʼekibuga. Tewali nʼomu alikkirizibwa kubaziika.

10Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza nʼokuweerezagana ebirabo, nʼokwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.

11Naye oluvannyuma lwʼennaku essatu nʼekitundu omwoyo gwʼobulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba.

12Awo ne bawulira eddoboozi eryʼomwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ngʼabalabe baabwe babalaba.

13Mu ssaawa eyo yʼemu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu ekyʼekkumi ekyʼekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda owʼeggulu.

14Ekyʼentiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.

15Awo malayika owʼomusanvu nʼafuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bwʼensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe nʼemirembe.”

16Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza

17nga bagamba nti,

17“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.”

18“Amawanga gaakunyiigira, naye kaakano naawe kyʼekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo era kyʼekiseera okusalira abo abaafa omusango, nʼokuwa empeera abaweereza bo bannabbi, nʼabatukuvu bo, nʼabo abatya erinnya lyo abakulu nʼabato, nʼokuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”

19Awo Yeekaalu ya Katonda eyʼomu ggulu nʼeggulwawo, nʼessanduuko eyʼendagaano nʼerabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa nʼokubwatuka kwʼeggulu nʼomuzira omungi ogwʼamaanyi era ensi yonna nʼekankanyizibwa musisi owʼamaanyi ennyo.

e>