1Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ngʼayambadde enjuba nʼomwezi nga guli wansi wa bigere bye, ngʼalina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe.
2Yali lubuto era ngʼakaaba ngʼalumwa okuzaala.
3Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu.
4Ku mukira gwʼogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼemmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso gʼomukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa.
5Omukazi nʼazaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna nʼomuggo ogwʼekyuma, amangwago nʼakwakulibwa nʼatwalibwa eri Katonda ku ntebe ye eyʼobwakabaka.
6Omukazi nʼaddukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.
7Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika abʼomu kibinja kye ne balwanyisa ogusota nʼeggye lya bamalayika baagwo.
8Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu.
9Ogusota ogwo ogwʼamaanyi, era gwe gusota ogwʼedda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi nʼeggye lyagwo lyonna.
10Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka mu ggulu nga ligamba nti,
11
12
13Awo ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi ne guyigganya omukazi eyazaala omwana owoobulenzi.
14Naye omukazi nʼaweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ngʼebyʼempungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gyʼalabiririrwa era gyʼakuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera nʼekitundu kyʼekiseera.
15Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza.
16Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala.
17Awo ogusota, nga gwonna gujjudde obusungu bungi, ne gugenda okulumba abaana bʼomukazi abalala, abo bonna abaali bakwata amateeka ga Katonda era nga bajulira Yesu.
18Ne guyimirira ku lubalama lwʼennyanja.