1Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu nʼamayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda.
2Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ngʼengo naye ngʼebigere byakyo biri ngʼebyʼeddubu, kyokka ngʼakamwa kaakyo kali ngʼakʼempologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu nʼentebe yaakyo eyʼobufuzi era nʼobuyinza bungi.
3Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo.
4Ne basinza ogusota olwʼokuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era nʼekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”
5Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu ebyʼokwegulumiza nʼebyʼobuvvoozi era ne kiweebwa nʼobuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
6Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda nʼobutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mwʼabeera, ne kivuma nʼabo ababeera mu ggulu.
7Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu nʼokubawangula era nʼokufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi.
8Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kwʼensi, abatawandiikiddwa mu kitabo ekyʼObulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.
9Alina amatu awulire.
10
11Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ngʼagʼakaliga akato naye ngʼeddoboozi lyakyo liri ngʼeryʼogusota.
12Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna.
13Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ngʼokuwandula ennimi ezʼomuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba.
14Olwʼokuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya lyʼekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu abʼoku nsi okukola ekifaananyi ekyʼekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyʼekitala ekyawona.
15Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogwʼobulamu mu kifaananyi kyʼekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza.
16Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu nʼabato, abagagga nʼabaavu, abʼeddembe nʼabaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi,
17nga tewali nʼomu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero akʼerinnya lyʼekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.
18Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu gʼomuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gwʼomuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.