1Awo ne ndaba Omwana gwʼEndiga ngʼayimiridde ku lusozi Sayuuni, ngʼali nʼabantu emitwalo kkumi nʼena mu enkumi nnya (144,000), ngʼerinnya lye nʼerya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi byʼabantu abo.
2Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ngʼekiyiriro ekyʼamazzi amangi nʼokubwatuka kwʼeggulu kwali kwʼamaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ngʼokuyimba okwʼabayimbi nga bakuba nʼennanga zaabwe.
3Ne bayimba oluyimba olwali ngʼoluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katonda ne mu maaso gʼebiramu ebina nʼabakadde. Ne wataba muntu nʼomu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi nʼena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi.
4Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gwʼEndiga buli gyʼalaga. Baanunulibwa mu bantu abʼomu nsi ne beewaayo ngʼebibala ebibereberye eri Katonda nʼeri Omwana gwʼEndiga.
5Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.
6Awo ne ndaba malayika omulala ngʼabuukira mu bbanga ngʼalina Enjiri eyʼemirembe nʼemirembe eyʼokubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi nʼabantu.
7Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja, nʼensulo zʼamazzi zonna.”
8Ate malayika omulala owookubiri nʼamugoberera ngʼagamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku mwenge gwʼobusungu obwʼobwenzi bwakyo.”
9Ne malayika omulala owookusatu nʼabagoberera ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo,
10oyo alinywa ku mwenge gwʼobusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe ekyʼobusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa nʼomuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga.
11Omukka gwʼokubonaabona kwabwe gunyooka emirembe nʼemirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana nʼekiro abo abaasinza ekisolo nʼekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza nʼokuteekebwako akabonero akʼerinnya lyakyo.
12Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”
13Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti Okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe. Balina omukisa ddala,” bwʼayogera Omwoyo.
14Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ngʼOmwana wʼOmuntu
15Awo malayika omulala nʼava mu Yeekaalu, nʼamugamba mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era nʼebyokukungula ku nsi byengedde.”
16Bwʼatyo eyali atudde ku kire nʼawuuba ekiwabyo kye era nʼakungula ensi.
17Awo malayika omulala nʼava mu Yeekaalu eyʼomu ggulu era naye ngʼalina ekiwabyo ekyogi.
18Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba byʼemizabbibu egyʼoku nsi, kubanga gyengedde.”
19Bwʼatyo malayika nʼawuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, nʼakuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero lyʼobusungu bwa Katonda.
20Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru wʼekibuga era omugga gwʼomusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ngʼokutuuka ku kyuma kyʼomu kamwa kʼembalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).