Okubikkulirwa 15:1-8 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akʼamaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire.

2Awo ne ndaba ekifaanana ngʼennyanja etangalijja ngʼeri ngʼendabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo nʼekifaananyi kyakyo awamu nʼakabonero akʼomuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa.

3Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, nʼoluyimba lwʼOmwana gwʼEndiga nga lugamba nti,

3“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna. Amakubo go matukuvu era ga mazima, ayi ggwe Kabaka wa mawanga.

4Ani ataakutye Ayi Mukama, nʼatagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo ebyʼobutuukirivu birabise.”

5Oluvannyuma lwʼebyo, ne ndaba Yeekaalu ngʼeggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro lyʼobujulirwa mu ggulu.

6Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu.

7Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe nʼemirembe.

8Awo Yeekaalu nʼejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda nʼemu maanyi ge, so tewaali muntu nʼomu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.

>