Okubikkulirwa 16:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.”

2Malayika eyasooka nʼava mu Yeekaalu nʼayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero kʼekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.

3Malayika owookubiri nʼayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ngʼomusaayi gwʼomuntu amaze ekiseera ekitono ngʼafudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.

4Malayika owookusatu nʼayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo zʼamazzi, byonna ne bifuuka ngʼomusaayi.

5Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ngʼayogera nti,

5“Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu, aliwo era eyaliwo, kubanga bwʼotyo bwe wasala omusango.

6Olwʼokubanga baayiwa omusaayi gwʼabatukuvu ne bannabbi, ogwo gwe musaayi gwʼobawadde okunywa.”

7Awo ne mpulira ekyoto ngʼakyogera nti, “Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”

8Awo malayika owookuna nʼayiwa ekibya kye ku njuba, nʼevaamu omuliro ne gwokya abantu.

9Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza wʼebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.

10Awo malayika owookutaano nʼayiwa ekibya kye ku ntebe eyʼobufuzi bwʼekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. Nʼabo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji,

11ne bavvoola Katonda owʼeggulu olwʼobulumi bwe baalimu, nʼamabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.

12Awo malayika owʼomukaaga nʼayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka abʼebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe.

13Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ngʼebikere nga giva mu kamwa kʼogusota, nʼakʼekisolo, nʼaka nnabbi owʼobulimba.

14Abo be baddayimooni abakozi bʼebyamagero abateesa nʼabafuzi bonna abʼoku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olwʼolutalo.

15“Laba, nzija ngʼomubbi! Alina omukisa oyo alindirira nʼakuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si ku lwa ngʼaswala.”

16Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.

17Awo malayika owʼomusanvu nʼayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi eryʼomwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe yʼobwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.”

18Awo ne walabika okumyansa kwʼeggulu nʼokubwatuka ne musisi owʼentiisa atabangawo ku nsi.

19Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, nʼebibuga byʼamawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe kyʼomwenge ekyʼobukambwe bwʼekiruyi kya Katonda.

20Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako.

21Nʼomuzira ogwʼamaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ngʼobuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olwʼekibonyoobonyo ekyo ekyʼokukubibwa omuzira ogwʼamaanyi era omuzito bwe gutyo.

e>