1Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu nʼajja nʼayogera nange, nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage ebigenda okutuuka ku mukazi malaaya omukulu atudde ku mazzi amangi.
2Bakabaka abʼoku nsi bayenda naye nʼabantu abʼoku nsi banywa omwenge ogwʼobwenzi bwe ne batamiira.”
3Bwʼatyo malayika nʼantwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ngʼatudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu nʼamayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda.
4Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu nʼolwa kakobe era ngʼalina nʼebintu ebirala ebyʼomuwendo, nga zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, era ngʼakutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde ebyʼomuzizo byonna ebyʼobwenzi bwe.
5Ebiwandiiko ebyʼekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti,
6Ne ndaba omukazi ngʼatamidde omusaayi gwʼabatukuvu, awamu nʼogwʼabajulirwa abattibwa olwa Yesu.
7Malayika nʼambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama ebyʼomukazi oyo era nʼekisolo kwʼatudde ekirina emitwe omusanvu nʼamayembe ekkumi.
8Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo ekyʼObulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.
9“Kale kyetaaga amagezi nʼokutegeera. Emitwe omusanvu ze nsozi omusanvu omukazi kwʼatudde, era be bakabaka omusanvu.
10Abataano baagwa, omu yʼaliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bwʼanajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono.
11Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, kyʼekyʼomunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.
12“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu nʼekisolo okumala essaawa emu.
13Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi nʼobuyinza bwabwe.
14Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gwʼEndiga, kyokka Omwana gwʼEndiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”
15Awo malayika nʼaŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kwʼatudde, be bantu nʼebibinja byʼabantu aba buli kika nʼaba buli lulimi.
16Ekisolo nʼamayembe ekkumi bye walaba birikyawa omukazi oyo ne bimulumba ne bimulwanyisa, era birimuleka bwereere nga talina kyʼayambadde ne birya omubiri gwe, ne bimwokya nʼomuliro.
17Kubanga Katonda ye yakibiwa bituukirize ebyo bye yasiima okukola, nʼokukola nʼomwoyo gumu nʼokuwa obwakabaka bwabwe ekisolo ekyo okutuusa ekigambo kya Katonda lwe kirituukirira.
18Ate omukazi gwe walabye, kyʼekibuga ekikulu ekifuga bakabaka bonna abʼoku nsi.”