Okubikkulirwa 18:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba malayika omulala ngʼakka okuva mu ggulu nʼobuyinza obungi ennyo era ensi nʼeyakaayakana olwʼekitiibwa kye yalina.

2Nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti,

2“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, nʼekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, nʼekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, nʼekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.

3Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gwʼobwenzi bwe. Bakabaka abʼomu nsi bonna baayenda naye. Era abasuubuzi abʼomu nsi yonna bagaggawadde olwʼobulamu bwe obwʼokwejalabya.”

4Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye.

5Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu, era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.

6Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala; mumubonereze emirundi ebiri olwʼebikolwa bye ebibi. Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.

7Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya, bwʼotyo bwʼoba omubonereza era omunakuwaze, kubanga ayogera mu mutima gwe nti, ‘Ntudde nga kabaka omukazi, siri nnamwandu, era sirina nnaku.’

8Noolwekyo ebibonyoobonyo ebyʼokufa nʼokukaaba nʼenjala birimujjira mu lunaku lumu, era alizikirizibwa nʼomuliro; kubanga Mukama Katonda amusalidde omusango.”

9“Bakabaka abʼomu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mwʼalyokerwa.

10Baliyimirira wala nga bakankana olwʼokutya era nga boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti,

10‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu! Ekibuga ekyʼamaanyi, Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’ ”

11“Abasuubuzi bʼomu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe.

12Ebyamaguzi ebya zaabu, nʼebya ffeeza, nʼebyʼamayinja agʼomuwendo, ne luulu, nʼebyʼengoye eza linena, nʼeza kakobe, nʼeza liiri, nʼemyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, nʼebintu ebyʼamasanga, na buli kika ekyʼemiti egyʼomuwendo ennyo, nʼebikomo, nʼebyuma awamu nʼamayinja aga mabbo;

13nʼebyakaloosa, nʼebinzaali, nʼobubaane, nʼomuzigo gwʼomugavu, ne wayini, nʼamafuta, nʼobuwunga bwʼeŋŋaano obulungi; nʼente, nʼendiga; nʼembalaasi, nʼamagaali; nʼabaddu nʼemyoyo gyabwe.

14“Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna ebyʼomuwendo omungi nʼebyʼokwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.”

15Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olwʼokubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olwʼokutya okubonaabona kwe, nʼokukaaba kwe, nʼokunakuwala kwe,

16nga bagamba nti,

16“Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu, ekifaanana ngʼomukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, nʼeza kakobe, nʼemyufu, era ngʼataddemu ebyʼomu bulago ebya zaabu nʼamayinja agʼomuwendo omungi ne luulu.

17Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!”

17“Era abo bonna abalina emmeeri ezʼebyʼobusuubuzi awamu nʼabagoba baazo, nʼabo abazikolamu, baayimirira wala.

18Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’

19Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,

19‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu! Kyabagaggawaza bonna abaalina ebyombo ku lubalama lwʼennyanja olwʼobugagga obwakirimu, naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.

20Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olwʼokubonerezebwa kwe, nammwe abatukuvu ne bannabbi nʼabatume musanyuke. Kubanga Katonda amusalidde omusango ku lwammwe.’ ”

21Awo malayika omu owʼamaanyi nʼasitula ejjinja eddene eriri ngʼolubengo nʼalisuula mu nnyanja nga bwʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Bwe kityo Babulooni, ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi nʼamaanyi, era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.

22Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi, nʼabakubi bʼennanga nʼeryʼabafuuyi bʼendere, nʼeryʼabafuuyi bʼeŋŋombe. Mu ggwe temulisangibwamu muweesi wadde okuweesa okwʼengeri yonna, newaakubadde okuvuga kwʼolubengo nga basa tekuliwulirwa mu ggwe.

23Ekitangaala kyʼettaala ngʼeyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna nʼebyʼobulogo bwo.

24Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gwʼabatukuvu nʼogwa bannabbi, nʼabo bonna abattibwa ku nsi.”

e>