Okubikkulirwa 19:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwʼebyo ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi mu ggulu nga bagamba nti, “Aleruuya! Obulokozi nʼekitiibwa nʼamaanyi bya Katonda waffe.

2Kubanga ensala ye eyʼemisango ya mazima era ya butuukirivu. Yabonereza malaaya omukulu eyayonoona ensi nʼobwenzi bwe. Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olwʼomusaayi gwʼabaweereza be.”

3Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Aleruuya! Omukka ogwʼokwokebwa kwe nʼomuliro, gunyooka emirembe nʼemirembe!”

4Awo ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, nga bagamba nti, “Amiina. Aleruuya.”

5Awo eddoboozi ne liva mu ntebe eyʼobwakabaka nga ligamba nti: “Mumutendereze Katonda waffe, mmwe abaddu be mwenna abamutya abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.”

6Ate ne mpulira oluyoogaano lwʼabantu abangi olwawulikika ngʼamayengo agʼennyanja ennene, oba ngʼeddoboozi eryʼokubwatuka, ne boogera nti, “Aleruuya, kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna yʼafuga.

7Ka tusanyuke, tujaguze, era tumugulumize, kubanga ekiseera kituuse ekyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga, era nʼomugole we yeeteeseteese.

8Omugole nʼayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo, olunekaaneka era olusingayo okutukula.”

8(Linena omulungi ennyo bye bikolwa ebyʼobutuukirivu ebyʼabatukuvu.)

9Malayika nʼaŋŋamba nti, “Wandiika nti Balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo kyʼembaga eyʼobugole eyʼOmwana gwʼEndiga.” Nʼayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

10Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye nʼaŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ngʼabooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gwʼobunnabbi.”

11Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ngʼagyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Owʼamazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo.

12Amaaso ge gaali ngʼolulimi lwʼomuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ngʼalina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga yʼalimanyi.

13Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ngʼerinnya lye ye Kigambo wa Katonda.

14Abʼeggye eryʼomu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru.

15Mu kamwa ke mwavaamu ekitala ekyʼobwogi ekyʼokutemesa amawanga. “Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma.” Alirinnya ku ssogolero lyʼomwenge ogwʼobusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna.

16Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:

16“KABAKA WA BAKABAKA ERA MUKAMA WA BAKAMA.”

17Awo ne ndaba malayika omu ngʼayimiridde mu njuba ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu,

18mulye ennyama yʼemirambo gya bakabaka, abakulu bʼamaggye nʼabasajja abʼamaanyi, nʼegyʼembalaasi nʼegyʼabo abazeebagala, era nʼegyʼabantu bonna abaddu nʼabʼeddembe, abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa.”

19Awo ne ndyoka ndaba ekisolo nʼabafuzi abʼomu nsi nʼamaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu nʼeggye lye.

20Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi owʼobulimba eyakolanga ebyamagero ngʼekisolo kiraba; bye yakola ngʼalimbalimba abo abakkiriza akabonero kʼekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi owʼobulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa.

21Abaasigalawo ne battibwa nʼobwogi bwʼekitala ekyava mu kamwa kʼoyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ezʼomu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.

e>