Okubikkulirwa 2:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Efeso wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati wʼebikondo byʼettaala omusanvu ebya zaabu,

2nti Mmanyi ebikolwa byo nʼokugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ngʼogezesezza abo abeeyita abatume nʼobavumbula nga balimba.

3Era ogumiikirizza okubonaabona nʼoguma olwʼerinnya lyange, nʼotokoowa.

4Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda.

5Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bwʼotookole bwʼotyo ndijja gyʼoli ne nzigyawo ekikondo kyʼettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya.

6Wabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa byʼAbanikolayiti[5] nga nange bwe mbikyawa.

7Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogwʼobulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.”

8“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Sumuna wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma nʼazuukira nʼaba mulamu,

9nti Mmanyi okubonaabona kwo nʼobwavu bwo, naye ngʼoli mugagga, era nʼokulimirira kwʼabo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani.

10Temutya nʼakatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule eyʼobulamu.

11Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.”

12“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼe Perugamo wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo alina ekitala ekyogi ekyʼobwogi obubiri

13nti, Mmanyi gyʼobeera awo awali entebe yʼobwakabaka bwa Setaani, kyokka ngʼonywezezza erinnya lyange era wasigala nʼokukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gyʼabeera.

14Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo abʼenjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego nʼabaliisa ennyama eyʼomuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era nʼokwenda.

15Ate era olinayo nʼabakkiririza mu njigiriza yʼAbanikolayiti.

16Noolwekyo weenenye, bwʼotookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo nʼekitala ekyʼomu kamwa kange.

17Alina amatu, awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”

18“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Suwatira wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ngʼennimi ezʼomuliro, nʼebigere ebimasamasa ngʼekikomo ekizigule

19nti, Mmanyi ebikolwa byo, nʼokwagala kwo, nʼokukkiriza kwo, nʼobutuukirivu bwo, nʼokugumiikiriza kwo, era nʼebikolwa byo ebyʼoluvannyuma bisinga ebyasooka.

20Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ngʼabayigiriza obwenzi nʼokulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala.

21Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe.

22Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era nʼabo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obwʼamaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe.

23Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti Nkebera emitima nʼebirowoozo era ndibasasula ngʼebikolwa byabwe bwe biri.

24Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani ebyʼobuziba ngʼenjogera bwʼegamba, sigenda kubassaako mugugu mulala.

25Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.

26Oyo aliwangula era nʼoyo alisigala ngʼakola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga.

27 ‘Alibafuga nʼomuggo ogwʼekyuma, nʼabayasaayasa ngʼayasaayasa ebibya ebyʼebbumba.’

28Era ndimuwa emmunyeenye eyʼenkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange.

29Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”

>