Okubikkulirwa 20:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne ndaba malayika ngʼakka okuva mu ggulu ngʼalina ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma era ngʼalina olujegere oluzito mu mukono gwe.

2Nʼakwata ogusota guli ogwʼedda, ye Setaani, nʼagusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi,

3nʼagusuula mu bunnya obutakoma era nʼagusibiramu nʼateekako nʼenvumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ngʼasumululwa okumala akaseera katono.

4Awo ne ndaba entebe ezʼobwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gyʼabo abaatemebwako emitwe olwʼokunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.

5Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ngʼemyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka.

6Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.

7Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye.

8Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga agʼomu nsonda ennya ezʼensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye eryʼokulwana eritasoboka na kubalika nga liri ngʼomusenyu ogwʼoku lubalama lwʼennyanja.

9Ne bambuka basale olusenyi olunene olwʼensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lwʼekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo.

10Awo Setaani eyabalimbalimba nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi owʼobulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana nʼekiro emirembe nʼemirembe.

11Awo ne ndaba entebe eyʼobwakabaka enjeru nʼOyo eyali agituddeko. Ensi nʼebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka.

12Ne ndaba abafu abeekitiibwa nʼabatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, nʼekitabo ekirala kyʼekitabo ekyʼobulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ngʼebikolwa bye bwe byali.

13Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, nʼokufa nʼAmagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu nʼasalirwa omusango, ngʼebikolwa bye bwe byali.

14Okufa nʼAmagombe ne bisuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro, kuno kwe kufa okwokubiri.

15Era buli eyasangibwa ngʼerinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo ekyʼobulamu, nʼasuulibwa mu nnyanja eyʼomuliro.

e>