Okubikkulirwa 21:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne ndaba eggulu eriggya nʼensi empya. Eggulu eryasooka nʼensi eyasooka byali biweddewo nga nʼennyanja tekyaliwo.

2Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ngʼomugole bwʼabeera ku mbaga eyʼobugole bwe, ngʼayonjereddwa bbaawe.

3Ne mpulira eddoboozi eryʼomwanguka nga lyogera okuva mu ntebe eyʼobwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.

4Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

5Oyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka nʼagamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era nʼaŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”

6Nʼaŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ezʼamazzi amalamu, agʼobuwa.

7Buli awangula alifuna ebyo byonna ngʼomugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.

8Naye abo ababi nʼabatakkiriza nʼabagwagwa, nʼabassi, nʼabenzi, nʼabalogo nʼabasinza ebifaananyi, nʼabalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja eyʼomuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

9Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu ebyʼenkomerero nʼajja nʼaŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole wʼOmwana gwʼEndiga.”

10Nʼantwala ku ntikko yʼolusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; nʼandaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,

11nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ngʼejjinja eryʼomuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja.

12Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ngʼaliko emiryango kkumi nʼebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, nʼamannya gʼebika ekkumi nʼebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo.

13Ku luuyi olwʼebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olwʼobukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olwʼobugwanjuba nga kuliko emiryango esatu.

14Bbugwe yaliko amayinja agʼomusingi kkumi nʼabiri agʼabatume bʼOmwana gwʼEndiga.

15Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo.

16Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, nʼobuwanvu nabwo nga bwenkana nʼobugazi awamu nʼobukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo.

17Ate nʼapima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ngʼekipimo kyʼomuntu bwe kiri ngʼapimye, awamu nʼekyʼabamalayika.

18Bbugwe waakyo yali azimbiddwa nʼamayinja agayesipi nga nʼekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ngʼendabirwamu ennungi.

19Emisingi gya bbugwe wʼekibuga nga giyooyooteddwa nʼamayinja agʼomuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa nʼamayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala,

20ogwokutaano aga sadonukisi, ogwʼomukaaga sadiyo, ogwʼomusanvu aga kerusoliso, ogwʼomunaana aga berulo, ogwʼomwenda aga topazi, ogwʼekkumi aga kerusoperaso, ogwʼekkumi nʼogumu aga kuwakinso, nʼogwʼekkumi nʼebiri aga amesusito.

21Ate emiryango ekkumi nʼebiri gyakolebwa nʼamayinja agʼomuwendo aga luulu ennungi kkumi nʼabiri, nga buli mulyango gukoleddwa nʼejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olwʼekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ngʼendabirwamu.

22Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu nʼOmwana gwʼEndiga, bo ye yeekaalu yaakyo.

23Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gwʼEndiga ye ttaala yaakyo.

24Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga agʼomu nsi, era abafuzi abʼomu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa.

25Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro.

26Kirifuna ekitiibwa nʼettendo ebyʼamawanga.

27Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo ekyʼobulamu ekyʼOmwana gwʼEndiga.

e>