1Awo malayika nʼandaga omugga ogwʼamazzi agʼobulamu agamasamasa ngʼendabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe eyʼobwakabaka eya Katonda, nʼeyʼOmwana gwʼEndiga,
2nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ezʼomugga kwaliko emiti egyʼobulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi nʼebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala ebyʼengeri endala; nʼamakoola gaagwo nga gakozesebwa ngʼeddagala okuwonya amawanga.
3Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe eyʼobwakabaka eya Katonda nʼeyʼOmwana gwʼEndiga ziribeera eyo, nʼabaddu be balimuweereza,
4era banaalabanga amaaso ge, nʼerinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe.
5Teribaayo kiro, noolwekyo ettaala oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda yʼanaabaakiranga era banaafuganga emirembe nʼemirembe.
6Awo malayika nʼaŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda wʼemyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
7
8Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga;
9kyokka ye nʼaŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu nʼabo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”
10Awo nʼaŋŋamba nti, “Ebyo byʼowandiise ebyʼobunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira.
11Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era nʼomugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, nʼabatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.
12
13
14
15
16
17Omwoyo nʼOmugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi agʼobulamu agʼobuwa.
18Ntegeeza buli omu awulira ebigambo ebyʼobunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
19Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo byʼobunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogwʼobulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.
20Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti,
21Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.