1“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Saadi wandiika nti, Bwʼati bwʼayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda nʼemmunyeenye omusanvu nti,Mmanyi ebikolwa byo, ngʼolina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu.
2Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu byʼokola sinnalabamu byʼotuukiriza mu maaso ga Katonda wange.
3Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bwʼotegendereze ndijja mangu ngʼomubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gyʼoli.
4Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde.
5Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo kyʼobulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti Oyo muntu wange.
6Alina amatu awulire Omwoyo kyʼagamba Ekkanisa ezo.”
7“Eri malayika owʼEkkanisa eyʼomu Firaderufiya wandiika nti,Bwʼati bwʼayogera oyo Omutukuvu era owʼamazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, nʼokuggalawo ne wataba aggulawo.