Okubikkulirwa 4:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Laba, oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira nʼeddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ngʼeryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.”

2Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe eyʼobwakabaka ngʼetegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko.

3Eyali agituddeko yali ayakaayakana ngʼamayinja agʼomuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ngʼentebe eyo yeetooloddwa musoke ngʼayakaayakana nga zumaliidi.

4Entebe eyʼobwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.

5Mu ntebe eyo eyʼobwakabaka ne muvaamu okumyansa nʼamaloboozi nʼokubwatuka. Mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda.

6Ne mu maaso gʼentebe eyo waaliwo ekiri ngʼennyanja eyʼendabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi nʼemabega waabyo nga biri wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼokugyetooloola.

7Ekisooka ku biramu bino kyali ngʼempologoma, ekyokubiri nga kifaanana ngʼennyana, nʼekyokusatu kyalina amaaso ngʼagʼomuntu, nʼekyokuna kyali ngʼempungu, ebuuka.

8Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana nʼekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti, Mukama Katonda Ayinzabyonna, Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”

8“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,

9Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa nʼettendo nʼokwebaza, Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna,

10abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, omulamu emirembe nʼemirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso gʼentebe eyo, nga bwe bagamba nti,

11“Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa nʼettendo nʼobuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”

>