1Awo ne ndaba omuzingo gwʼekitabo mu mukono ogwa ddyo ogwʼOyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bwʼenvumbo musanvu.
2Ne ndaba malayika owʼamaanyi ngʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼabuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gwʼekitabo guno alyoke aguzingulule?”
3Ne wataba nʼomu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi wʼensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu.
4Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo nʼomu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu.
5Awo omu ku bakadde abiri mu abana nʼaŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma eyʼomu kika kya Yuda, owʼomu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era yʼayinza okukutula obubonero omusanvu obwʼenvumbo nʼokuzingulula omuzingo gwʼekitabo.”
6Ne ndaba nga ali ngʼOmwana gwʼEndiga ngʼattiddwa ngʼayimiridde wakati wʼentebe eyʼobwakabaka nʼebiramu ebina, ne wakati wʼabakadde, ngʼalina amayembe musanvu nʼamaaso musanvu, gyʼemyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu ekyʼensi.
7Nʼasembera nʼaggya omuzingo gwʼekitabo mu mukono ogwa ddyo ogwʼOyo eyali atudde ku ntebe eyʼobwakabaka.
8Bwe yagukwata, ebiramu ebina nʼabakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga ne bavuunama, buli omu ngʼalina ennanga era ngʼakutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kwʼabantu abatukuvu.
9Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,
10
11Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi nʼenkumi, nʼenkuyanja nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka awamu nʼebiramu biri nʼabakadde bali.
12Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti,
13Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi wʼensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti,
14Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” Nʼabakadde ne bavuunama ne bamusinza.