1Awo ne ndaba Omwana gwʼEndiga ngʼabembulula akamu ku bubonero bwʼenvumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera nʼeddoboozi eryawulikika ngʼokubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!”
2Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ngʼagyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; nʼaweebwa engule nʼagenda ngʼawangula, nʼawangulira ddala.
3Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!”
4Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde nʼaweebwa ekitala ekiwanvu, nʼaweebwa nʼobuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, nʼokuleeta entalo wakati wʼabantu, battiŋŋane bokka na bokka.
5Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu nʼeyali agyebagadde ngʼakutte minzaani mu mukono gwe.
6Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ngʼeriva wakati wʼebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo yʼobuwunga bwa sayiri nayo bwʼeba egula, kyokka omuzigo ne wayini tobyonoona.”
7Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!”
8Ne ndaba, era laba, embalaasi eyʼerangi ensiiwuukirivu nʼeyali agyebagadde ngʼayitibwa Walumbe, ne Magombe nʼagenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna ekyʼensi, okutta nʼekitala, nʼenjala, nʼolumbe, nʼensolo enkambwe ezʼoku nsi.
9Bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akookutaano ne ndaba wansi wʼekyoto emyoyo egyʼabo abattibwa olwʼokubuulira ekigambo kya Katonda nʼolwʼokuba abeesigwa mu bujulizi bwabwe.
10Ne bakaabirira Mukama nʼeddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era owʼamazima, onoosalira ddi abantu bʼensi omusango, nʼowoolera eggwanga olwʼomusaayi gwaffe?”
11Buli omu ku bo nʼaweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.
12Awo ne ndaba ngʼabembulula akabonero kʼenvumbo akʼomukaaga; ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo, era enjuba nʼeddugala nʼefuuka nzirugavu ngʼekikutiya ekyakolebwa mu bwoya, nʼomwezi gwonna ne gumyuka ngʼomusaayi.
13Awo emmunyeenye ezʼomu ggulu ne zigwa ku nsi ngʼomutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga owʼamaanyi,
14nʼeggulu ne lyezingako ngʼomuzingo gwʼekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.
15Bakabaka bʼensi, nʼabafuzi abʼoku ntikko nʼabantu abagagga, nʼabakulu bʼamaggye nʼabʼamaanyi, na buli muddu nʼowʼeddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi zʼensozi.
16Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso gʼOyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, ne mu busungu bwʼOmwana gwʼEndiga.
17Kubanga olunaku olukulu olwʼobusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”