1Oluvannyuma lwʼebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ezʼensi, nga bakutte empewo ennya ezʼensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna.
3“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, nʼennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero kʼenvumbo ka Katonda akakulu ku byenyi byʼabaweereza ba Katonda waffe.
4Awo ne mpulira omuwendo gwʼabo abaateekebwako akabonero kʼenvumbo nga baali emitwalo kkumi nʼena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi nʼebibiri ebya Isirayiri.
5Abʼomu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
6abʼomu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
7abʼomu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
8abʼomu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),abʼomu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero kʼenvumbo.”
9Oluvannyuma lwʼebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kyʼabantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ne mu maaso gʼOmwana gwʼEndiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina nʼenkindu mu ngalo zaabwe.
10Ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nga bagamba nti,
10“Obulokozi bwa Katonda waffeatudde ku ntebe eyʼobwakabakaera bwa Mwana gwʼEndiga.”
11Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe eyʼobwakabaka nʼabakadde era nʼebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka ngʼebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda.
13Awo omu ku bakadde nʼambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”
14Ne nziramu nti. “Mukama wange, gwʼomanyi.” Nʼaŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gwʼOmwana gwʼEndiga.
15Kyebavudde
15babeera wano mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka eya Katondanga bamusinza emisana nʼekiro mu Yeekaalu ye.Oyo atudde ku ntebe eyʼobwakabaka, anaaberanga nabo ngʼabalabirira.