1Awo Omwana gwʼEndiga bwe yabembulula akabonero kʼenvumbo akʼomusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ngʼekitundu kyʼessaawa.
2Ne ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.
3Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu nʼajja nʼayimirira okuliraana ekyoto, nʼaweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu nʼokusaba kwʼabatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso gʼentebe eyʼobwakabaka.
4Akaloosa akalungi nʼomukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu nʼokusaba kwʼabatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka.
5Malayika nʼaddira ekyoterezo nʼakijjuza omuliro gwʼaggye ku kyoto nʼaguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, nʼokuwuluguma, nʼokwakaayakana, nʼokumyansa kwʼeggulu era ne wabaawo ne musisi.
6Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.
7Malayika owʼolubereberye nʼafuuwa ekkondeere lye, omuzira nʼomuliro nga byetabudde nʼomusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu ekyʼensi ne kiggya omuliro, bwe kityo nʼekitundu kimu kyakusatu ekyʼemiti ne kiggya omuliro, nʼomuddo gwonna ne guggya.
8Malayika owookubiri nʼafuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ngʼolusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi,
9nʼekimu ekyokusatu ekyʼebitonde ebyʼomu nnyanja ne kifa, nʼekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼamaato ne kizikirira.
10Malayika owookusatu nʼafuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana nʼegwa okuva mu ggulu, nʼegwa mu kitundu ekimu ekyokusatu ekyʼemigga nʼensulo zʼamazzi.
11Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” nʼetteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu ekyʼamazzi gonna, abantu bangi ne bafa.
12Malayika owookuna nʼafuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼenjuba nʼekimu ekyokusatu ekyʼomwezi, nʼekimu ekyokusatu ekyʼemmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obwʼemisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼomusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, nʼekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.
13Ne ndaba empungu emu ngʼebuuka mu bbanga ngʼereekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu abʼoku nsi olwʼebintu ebyʼentiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”