Okubikkulirwa 9:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Awo malayika owookutaano nʼafuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ngʼeva mu ggulu ngʼegwa ku nsi era nʼeweebwa ekisumuluzo ekyʼobunnya obutakoma.

2Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ngʼoguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olwʼomukka ogwʼomu bunnya.

3Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ngʼenjaba ezʼobusagwa.

4Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.

5Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ngʼobulumi bwazo buli ngʼobuva mu kubojjebwa enjaba ezʼobusagwa.

6Mu biro ebyo abantu balyagala okwetta naye tekirisoboka kubanga okufa kuliba kubeesamba; balyegomba okufa naye kwo, nga kubadduka buddusi!

7Enzige zino zaali zifaanana ngʼembalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ngʼokutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ngʼebyʼabantu.

8Obwoya bwazo nga buli ngʼenviiri zʼabakazi, ate go amannyo gaazo gaali ngʼagʼempologoma.

9Zaali zambadde ebyʼomu bifuba ebiri ngʼebyʼebyuma, nga nʼebiwaawaatiro byazo biwuluguma ngʼeddoboozi lya nnamuziga wʼamagaali, agʼembalaasi ennyingi nga zifubutuka okulaga mu lutalo.

10Zaalina emikira egibojja ngʼegyʼenjaba ezʼobusagwa. Nʼobuyinza bwazo obwʼokubonyaabonya obwaziweebwa obwʼemyezi etaano bwali mu mikira omwo.

11Kabaka waazo ye malayika owʼobunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni[6] ate mu Luyonaani ye Apolwoni.[7]

12Ekyʼentiisa ekisooka ne kiyita, naye ngʼekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!

13Awo malayika owʼomukaaga nʼafuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda,

14nga ligamba malayika oyo owʼomukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.”

15Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka nʼomwezi ogwo, nʼolunaku olwo, nʼessaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼabantu.

16Ne mpulira omuwendo ogwʼeggye eryʼabaserikale nga bali obukadde ebikumi bibiri.

17Ne ndaba mu kwolesebwa, ngʼembalaasi nʼabaali bazeebagadde nga bambadde ebyʼomu bifuba ebimyufu, era mwalimu nʼabambadde ebya bbululu nʼebya kyenvu. Emitwe gyʼembalaasi gyali gifaanana ngʼegyʼempologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro nʼomukka ne salufa.

18Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka nʼomuliro nʼobuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu ekyʼabantu.

19Amaanyi gaazo agʼokutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ngʼemitwe gyʼemisota, nga gye zibojjesa.

20Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lwʼebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni nʼebifaananyi ebyakolebwa nʼemikono ebya zaabu nʼebya ffeeza, nʼebyʼebikomo, nʼebyʼamayinja nʼomuti, ebitalaba yadde okuwulira so nʼokutambula tebitambula.

21Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.

>