Okukungubaga 1:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa! Ekyabanga ekyʼamaanyi mu mawanga, nga kifuuse nga nnamwandu! Eyali kabaka omukazi ngʼalina amasaza, afuuse omuddu omukazi.

2Ekiro akaaba nnyo nnyini, nʼamaziga ne gakulukuta ku matama ge. Mu baganzi be bonna, talina nʼomu amubeesabeesa. Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe, bafuuse balabe be.

2

3 Yuda agenze mu buwaŋŋanguse oluvannyuma lwʼokubonaabona nʼokukozesebwa nʼobukambwe ngʼomuddu. Kati abeera mu bannamawanga, talaba kifo kya kuwummuliramu. Bonna abamunoonya bamusanga mu nnaku ye.

3

4Enguudo za Sayuuni zikungubaga, kubanga tewali nʼomu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa. Emiryango gye gyonna girekeddwa awo, bakabona be, basinda; bawala be abaweereza bali mu buyinike, naye yennyini ali mu nnaku.

4

5Abamuyigganya bafuuse bakama be; abalabe be beeyagala, kubanga Mukama amuleeseeko ennaku, olwʼebibi bye ebingi. Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse, bawambiddwa omulabe.

5

6Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni kimuweddeko, abalangira be bafuuse ngʼennangaazi ezibuliddwa omuddo; mu bunafu, badduse ababagoba.

6

7Mu nnaku ezʼokubonaabona kwe ngʼasagaasagana, Yerusaalemi ajjukira ebintu ebyʼomuwendo byonna bye yalinanga mu nnaku ezʼedda. Abantu be bwe baagwa mu mikono gyʼomulabe, tewaali nʼomu amubeera; abalabe be ne bamutunuulira ne bamusekerera olwʼokugwa kwe.

7

8Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, bwʼatyo nʼafuuka atali mulongoofu. Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma, kubanga balabye bwʼasigalidde awo; ye yennyini asinda, era akwatibwa ensonyi.

8

9Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye; teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obwʼebiseera ebijja. Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo; tewaali nʼomu amubeesabeesa. “Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange, kubanga omulabe awangudde.”

9

10Omulabe yagololera omukono ku bintu bya Yerusaalemi byonna ebyʼomuwendo; yalaba amawanga amakaafiiri nga gayingira awatukuvu we, beebo be wali ogaanye okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.

10

11Abantu be bonna basinda nga bwe banoonya ekyokulya; ebyʼobugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, okusobola okuba abalamu. “Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo kubanga nnyoomebwa.”

11

12“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo? mwetegereze mulabe obanga waliwo obuyinike obwenkana, obwantukako, Mukama bwe yanteekako ku lunaku olwʼobusungu bwe obungi.

12

13“Yaweereza omuliro okuva waggulu, ne gukka mu magumba gange. Yatega ebigere byange akatimba, nʼanzizaayo emabega. Yandeka mpuubadde, nga nzirise olunaku lwonna.

13

14“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo; bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe. Binzitoowerera mu bulago, era bimmazeemu amaanyi. Mukama ampaddeyo mu mikono gyʼabo be siyinza kugumiikiriza.

14

15“Mukama anyoomye abalwanyi abazira bonna abaali nange; akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa, okuzikiriza abavubuka bange. Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda, ngʼomuntu bwʼasambirira ezabbibu mu lyato ngʼasogola.

15

16“Kyenva nkaaba, amaaso gange ne gajjula amaziga, kubanga tewali nʼomu andi kumpi okumbeesabeesa, ayinza okunzizaamu amaanyi. Abaana bange banakuwavu kubanga omulabe awangudde.”

16

17Sayuuni agolola emikono gye, naye tewali nʼomu amudduukirira. Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo baliraanwa be babeere balabe be; Yerusaalemi afuuse ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.

17

18“Mukama mutuukirivu, newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye. Muwulirize mmwe amawanga gonna, mutunuulire okubonaabona kwange; Abavubuka bange ne bawala bange batwalibbwa mu busibe.

18

19“Nakoowoola bannange bannyambe, naye tebanfaako; bakabona bange nʼabakadde bʼekibuga kyange bazikiririra mu kibuga nga banoonya ekyokulya baddemu amaanyi.

19

20“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu! Ndi mu kubonaabona, nʼomutima gwange teguteredde kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde. Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo, ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.

20

21“Abantu bawulidde okusinda kwange, naye tewali nʼomu ananyamba. Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange; basanyukidde ekyo kyʼokoze. Olunaku lwe walangirira, lubatuukeko, babeere nga nze.

21

22“Obabonereze olwʼobutali butuukirivu bwabwe bwonna, nga nze bwe wambonereza. Okusinda kwange kungi nʼomutima gwange guzirika.”