6Asaanyizzaawo eweema ye nʼefaanana ngʼennimiro,era azikirizza nʼekifo kye ekyʼOkukuŋŋaanirangamu.Mukama yeerabizza Sayuuniembaga ze entukuvu ne ssabbiiti,era mu busungu bwe obungianyoomye kabaka ne kabona.
6
7Mukama atamiddwa ekyoto kye,nʼalekulira nʼekifo kye ekitukuvu.Awaddeyo bbugwe wʼembiri ze eri omulabe;era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,ne baleetamu oluyoogaanonga ku lunaku olwʼembaga entukuvu.
7
8Mukama yamalirira okumenyabbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,nʼagolola omuguwa ogupima,Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,byonna ne biggweerera.
8
9Emiryango gye gisse mu ttaka,nʼemitayimbwa gyagyo agimenye nʼagyonoona.Kabaka we nʼabakungu be baawaŋŋangusizibwa,eteri mateeka gaabwe agabafuga,era ne bannabbi be tebakyafunakwolesebwa kuva eri Mukama.
9
10Abakadde bʼOmuwala wa Sayuunibatuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;bayiye enfuufu ku mitwe gyabweera beesibye ebibukutu;nʼabawala ba Yerusaalemibakotese emitwe gyabwe.
10
11Amaaso gange gakooye olwʼokukaabanʼemmeeme yange enyiikaddenʼomutima gwange gulumwaolwʼokuzikirizibwa kwʼabantu bange,nʼolwʼabaana abato nʼabaana abawere okuzirikirawakati mu nguudo ezʼomu kibuga.
11
12Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,“Omugaati ne wayini biri ludda wa?”nga bwe bazirika okufaanana ngʼabaliko ebiwundumu nguudo ezʼekibuga,nga bwe bakaabiramu bifuba bya bannyaabwe.
14Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwookukuwonya obusibe.Engero ze baabanyumizangazaali za bulimba era eziwabya.
14
15Bonna abayitawobabakubira mu ngalone bafuuwa empa ne banyeenyezaomuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,“Kino kye kibuga ekyayitibwangaekituukiridde,era essanyu lyʼensi zonna?”
15
16Abalabe bo bonnabaasaamiridde nga beewuunya;nga bafuuwa empa, era baluma amannyonga boogera nti, “Tumuzikirizza.Luno lwe lunaku lwe twalindirira,kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
16
17Mukama akoze kye yateekateeka,era atuukirizza ekigambo kyekye yalagira mu nnaku ezʼedda.Akuzikirizza awatali kukusaasira,aleetedde omulabe wo okukusekerera,nʼamaanyi gʼabalabe bo agagulumizza.
17
18Kaabirira Mukamanʼeddoboozi eryʼomwangukaggwe Omuwala wa Sayuuni.Leka amaziga go gakulukute ngʼomuggaemisana nʼekiro.Teweewummuza so toganyamaaso go kuwummula.
18
19Golokoka, okaabe ekiroobudde nga bwa kaziba;Fuka emmeeme yo ngʼamazzimu maaso ga Mukama.Yimusa emikono gyo gyʼali,olwʼobulamu bwʼabaana bo abatoabazirise olwʼenjalamu buli luguudo.
19
20“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!Ani gwe wali obonerezza bwʼotyo?Ddala, abakyala balye ebibala byʼembuto zaabwe,abaana be bakuzizza?Ddala, bakabona ne bannabbi battibwemu watukuvu wa Mukama?
20
21“Abato nʼabakulu bonna bafiiridde wamumu nfuufu eyʼenguudo;abavubuka bange ne bawala bangebattiddwa nʼekitala;obattidde ku lunaku olwʼobusungu bwo,era obasse awatali kusaasira.
21
22“Nga bwʼoyita abantu ku lunaku olwʼembaga,bwʼotyo bwʼompitidde ebikemo ku njuyi zonna;era ku lunaku olwʼobusungu bwa Mukama,tewali nʼomu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;abo be nalabirira ne nkuza,omulabe wange be yazikiriza.”