Okukungubaga 3:1-66 LGCB2014 - Bible AI

1Nze muntu eyakangavvulwa nʼomuggo ogwʼobusungu bwe.

2Angobye mu maaso ge nʼantambuliza mu kizikiza, awatali kitangaala;

3Ddala, omukono gwe gunnwanyisizza emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.

3

4Akaddiyizza omubiri gwange nʼeddiba lyange era amenye nʼamagumba gange.

5Antaayizza nʼanzijuza obulumi nʼokubonaabona.

6Antadde mu kizikiza ngʼabafu abaafa edda.

6

7Ankomedde nʼokuyinza ne siyinza kudduka, ansibye enjegere ezizitowa.

8Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe, okusaba kwange akuggalira bweru.

9Anteeredde amayinja mu kkubo lyange era akyamizza amakubo gange.

9

10Ngʼeddubu bwe liteega, nʼempologoma bwe yeekweka

11yansikambula nʼanziggya mu kkubo lyange nʼantaagulataagula nʼandeka awo nga sirina anyamba.

12Yanaanuula omutego gwe, nʼanteekawo okuba ssabbaawa eyʼobusaale bwe.

12

13Yafumita omutima gwange nʼobusaale okuva mu mufuko gwe.

14Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna, era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.

15Anzijuzza ebikaawa era ampadde ekikompe ekyʼobubalagaze nkinywe.

15

16Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka; anninnyiridde mu nfuufu.

17Emmeeme yange terina mirembe, nʼokujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.

18Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze, nʼessuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”

18

19Nzijukira okubonaabona kwange nʼokuwankawanka kwange, nʼobulumi nʼobubalagaze.

20Mbijjukira bulungi era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.

21Ebyo byonna mbijjukira, kyenvudde mbeera nʼessuubi.

21

22Olwʼokwagala kwa Mukama okutaggwaawo, tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.

23Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya; nʼobwesigwa bwo bwa lubeerera.

24Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange, kyenaava mbeera nʼessuubi mu ye.”

24

25Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi, eri oyo amunoonya.

26Kirungi omuntu okulindirira obulokozi bwa Mukama nʼobukkakkamu.

27Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye mu buvubuka bwe.

27

28Atuulenga yekka mu kasirise kubanga Mukama yʼakimwambiseemu.

29Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.

30Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa, era amalibwe nʼokuvumibwa.

30

31Kubanga Mukama taligobera bantu bweru ebbanga lyonna.

32Newaakubadde ngʼaleeta obulumi, aliraga ekisa kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.

33Tagenderera kuleeta bulumi newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

33

34Mukama akkiriziganya nʼokulinnyirira abasibe,

35nʼokuggyako omuntu obwetwaze bwe mu maaso gʼOyo Ali Waggulu Ennyo,

36oba nʼobutaba na bwenkanya eri omuntu?

36

37Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira, Mukama nga takiragidde?

38Mu kamwa kʼoyo Ali Waggulu Ennyo, si mmwe muva ebigambo ebyʼokubeerwa nʼebyʼokubonereza?

39Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya, bwʼabonerezebwa olwʼebibi bye?

39

40Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze, tudde eri Mukama.

41Tuyimuse emitima gyaffe nʼemikono gyaffe eri Katonda mu ggulu, twogere nti,

42“Twayonoona ne tujeema, tokyerabiranga era tonatusonyiwa.”

42

43“Ojjudde obusungu nʼotugobaganya, nʼotutta awatali kutusaasira.

44Weebisseeko ekire, waleme okubaawo okusaba nʼokumu okutuuka gyʼoli.

45Otufudde obusa nʼebisasiro mu mawanga.”

45

46“Abalabe baffe bonna batwogerako ebigambo ebibi.

47Tubonyeebonye olwʼentiisa nʼemitego nʼokunyagibwa nʼokuzikirizibwa;

48amaaso gange gakulukuta emigga gyʼamaziga olwʼokuzikirira kwʼabantu bange.”

48

49Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga awatali kusirika,

50okutuusa Mukama lwʼalisinzira mu ggulu nʼalaba.

51Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange, olwʼebyo ebyatuuka ku bawala bʼekibuga kyange.

51

52Abalabe bange banjigganya olutata ne baba ngʼabayigga ennyonyi.

53Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya, ne bankasuukirira amayinja;

54amazzi gaabikka omutwe gwange, ne ndowooza nti, nsanyeewo.

54

55“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama, nga ndi mu bunnya wansi ennyo;

56wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go eri okukaaba kwange.”

57Bwe nakukoowoola wansemberera nʼoyogera nti, “Totya!”

57

58Mukama watunula mu nsonga yange, era nʼonunula obulamu bwange.

59Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola, obasalire omusango nga bwe kibagwanira.

60Walaba bwe bampalana, nʼenkwe zaabwe zonna ze bansalira.

60

61Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda, nʼenkwe zaabwe zonna ze bansalira,

62obwama nʼebirowoozo ebyʼabalabe bange bye bantesaako obudde okuziba.

63Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe; bannyooma nga bwe bannyimbirira.

63

64Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda, olwʼebikolwa ebyʼemikono gyabwe.

65Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe, nʼekikolimo kyo kibabeereko.

66Obayigganye mu busungu bwo obazikirize ngʼosinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.