1 Zaabu ngʼettalazze! Zaabu ennungi ngʼefuuse! Amayinja agʼomuwendo gasaasaanye buli luguudo we lutandikira.
2 Abaana ba Sayuuni abʼomuwendo abaali beenkana nga zaabu ennungi, kaakano bali ngʼensuwa ezʼebbumba, omulimu gwʼemikono gyʼomubumbi.
2
3 Ebibe biyonsa abaana baabyo, naye abantu bange bafuuse ngʼabatalina kisa, bafaanana nga bammaaya mu ddungu.
3
4 Olwʼennyonta omwana ayonka gyʼalina, olulimi lwe lukwatira ku kibuno kyʼakamwa ke; abaana basaba emmere naye tewali nʼomu agibawa.
4
5 Abaalyanga ebiwoomerera basabiriza ku nguudo; nʼabo abaakuzibwa ngʼabambala engoye ezinekaaneka bali ku ntuumu ezʼebisasiro.
5
6 ⓒ Ekibonerezo kyʼabantu bange kisinga ekya Sodomu, ekyawambibwa mu kaseera akatono, nga tewali nʼomu azze kukibeera.
6
7 Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira, nga beeru okusinga amata; nʼemibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu, era banyirivu nga safiro.
7
8 Naye kaakano badduggala okusinga enziro, era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo. Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe; lukaze ngʼekiti ekikalu.
8
9 Abafa ekitala bafa bulungi okusinga abafa enjala, kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo olwʼobutaba na mmere mu nnimiro.
9
10 ⓓ Abakazi abʼekisa abaagala abaana bafumbye abaana baabwe; abaana abaafuuka emmere abantu bange bwe baazikirizibwa.
10
11 Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi, era abayiyeeko obusungu bwe obungi. Yakoleeza omuliro mu Sayuuni ogwayokya emisingi gyakyo.
11
12 Bakabaka bʼensi nʼabantu abʼensi endala tebakkiriza, nti abalabe nʼababakyawa baliyingira mu wankaaki wa Yerusaalemi.
12
13 Ebyo byabatuukako olwʼebibi bya bannabbi be, nʼolwʼobutali butuukirivu bwa bakabona be, abaayiwa omusaayi gwʼabatuukirivu abaababeerangamu.
13
14 Badoobera mu nguudo nga bamuzibe; bajjudde omusaayi so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.
14
15 Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu! Muviireewo ddala, so temutukwatako!” Bwe baafuuka emmombooze, amawanga gabagobaganya nga boogera nti, “Tebakyasaana kubeera wano.”
15
16 Mukama yennyini abasaasaanyizza, takyabafaako. Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo ebyʼokumwanjo.
16
17 Amaaso gaffe gakooye olwʼokulindirira okubeerwa okutajja; nga tulindirira eggwanga eriyinza okutulokola.
17
18 Baatucocca ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe; enkomerero yaffe nʼeba kumpi, nʼennaku zaffe ne ziggwaayo.
18
19 Abaatuyiganyanga baatusinga embiro okusinga nʼempungu ezʼomu bbanga. Baatugobera mu nsozi ne batuteegera mu ddungu.
19
20 Oyo Mukama gwe yafukako amafuta yagwa mu mitego gyabwe. Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye ne tubeeranga mu mawanga.
20
21 Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi; naye lumu olinywa ku kikompe nʼotamiira ne weeyambula.
21
22 Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo, talikwongerayo mu busibe. Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza, nʼayanika ekibi kyo mu lujjudde.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.