Okukungubaga 5:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko. Tunula olabe ennaku yaffe.

2Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga, nʼamaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.

3Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe, ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.

4Tusasulira amazzi ge tunywa; nʼenku tuteekwa okuzigula.

5Abatucocca batugobaganya; tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.

6Twakola endagaano ne Misiri nʼAbasuuli okutufuniranga ku mmere.

7Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa, naye tubonerezebwa olwʼebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.

8Abaddu be batufuga, tewali nʼomu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.

9Tuba kumpi nʼokuttibwa nga tunoonya emmere, olwʼekitala ekiri mu ddungu.

10Olususu lwaffe luddugadde ngʼenziro olwʼenjala ennyingi.

11Abakyala ba Sayuuni, nʼabawala embeerera abʼomu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olwʼamaanyi.

12Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe nʼabakadde tewali abassaamu kitiibwa.

13Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo, nʼabalenzi batagala nga beetisse entuumu zʼenku.

14Abakadde tebakyatuula mu wankaaki wʼekibuga, nʼabavubuka tebakyayimba.

15Emitima gyaffe tegikyasanyuka, nʼokuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.

16Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe. Zitusanze kubanga twonoonye!

17Emitima gyaffe kyegivudde gizirika, era nʼamaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.

18Olwʼokuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere, ebibe kyebivudde bitambulirako.

19Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna; entebe yo eyʼobwakabaka ya mirembe na mirembe.

20Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna? Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gyʼoli.

21Tukomyewo gyʼoli Ayi Mukama, otuzze buggya ngʼedda;

22wabula ngʼotusuulidde ddala, era ngʼotusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.