1
2Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda,
3ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini,
4ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri.
5
6Awo Yusufu nʼafa; ne baganda be ne bonna abʼomulembe ogwo ne bafa.
7Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.
8
9Nʼagamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi.
10Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta nʼabalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”
11Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye nʼemirimu egyʼobuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga ebyʼamaterekero, Pisomu ne Lamusesi.
12Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya.
13Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri nʼobukambwe.
14Obulamu bwʼAbayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ngʼabaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; nʼemirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga nʼamaanyi era nʼobukambwe.
15Awo kabaka wʼe Misiri nʼayogera nʼabazaalisa bʼAbaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa
16“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ngʼomwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bwʼabanga owoobuwala, mumulekanga nʼalama.”
17Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka wʼe Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, nʼabaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama.
18Kabaka wʼe Misiri nʼayita abazaalisa, nʼababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”
19Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ngʼabakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”
20Katonda, nʼayisanga bulungi abazaalisa nʼabawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo.
21Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, nʼabawa ezzadde.
22Falaawo nʼalyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”