1Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, nʼomutima gwʼabaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino:
2era naawe onyumize abaana bo, nʼabaana bʼabaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, nʼebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”
3Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Mukama Katonda wa Abaebbulaniya nʼagamba bwʼati nti, ‘Olituusa ddi ngʼokyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze.
4Singa ogaana okubakkiriza okugenda, enkya nzija kuleeta enzige mu nsi yo.
5Zijja kubikka ensi yonna, wabulewo nʼomuntu wʼayisa eriiso okulaba ettaka. Zijja kulya ebyo omuzira bye gwalekawo, zirye ne buli muti ogukula mu nnimiro.
6Zinajjuza amayumba go, nʼamayumba gʼabakungu bo bonna, nʼamayumba gʼAbamisiri bonna; ekyo bakadde bo, ne bakadde ba bakadde bo nga tebakirabangako kasookedde babeera mu nsi eno nʼokutuusa leero.’ ” Musa nʼakyuka nʼaviira Falaawo.
7Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ngʼatufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bwʼeweddewo?”
8Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. Nʼabagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?”
9Musa nʼaddamu nti, “Abakulu nʼabato, batabani baffe ne bawala baffe bonna tujja kugenda nabo; era tugenda nʼamagana gaffe nʼebisibo byaffe, kubanga waliwo embaga gye tujja okukolera Mukama.”
10Falaawo nʼabagamba nti, “Mukama abeere nammwe, obanga mulowooza nga nzija kubaleka mugende, mmwe nʼabaana bammwe! Nze ndaba nga mulina olukwe lwe muteekateeka.
11Nedda! Abasajja bokka ka bagende basinze
12Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, nʼebyo byonna omuzira bye gwataliza.”
13Musa nʼagolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda nʼaleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna nʼekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige.
14
15
16Awo Falaawo nʼatumya Musa ne Alooni bunnambiro, nʼabagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli.
17Mbeegayiridde munsonyiwe olwʼokwonoona kwange, omulundi guno gwokka; era musabe Mukama Katonda wammwe anziggyeeko olumbe luno lwokka olututta.”
18Musa nʼava ewa Falaawo ne yeegayirira Mukama.
19Awo Mukama nʼaleeta embuyaga ezʼamaanyi ennyo nga ziva ebuvanjuba, ne zisitula enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emyufu. Tewaasigala nzige nʼemu wonna wonna mu nsi yʼe Misiri.
20Naye Mukama nʼakakanyaza omutima gwa Falaawo, abaana ba Isirayiri nʼatabakkiriza kugenda.
21Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi eyʼe Misiri; ekizikiza ekiyinza nʼokuwulikika.”
22
23Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye wʼabeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ngʼobudde bulaba.
24Awo Falaawo nʼatumya Musa, nʼamugamba nti, “Mugende musinze Mukama. Abaana bammwe nabo mugende nabo, wabula ente zammwe, nʼembuzi nʼendiga ze ziba zisigala.”
25Naye Musa nʼaddamu nti, “Osaana otuleke tutwale ebisolo ebyʼokuwaayo ssaddaaka nʼebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda waffe.
26Ente zaffe tusaana okugenda nazo; tewali nsolo nʼemu eneesigala. Kubanga kitusaanira okuzitwala nga tugenda okusinza Mukama Katonda waffe; kubanga tujja kumala kutuuka eri, ne tulyoka tumanya kye tunaakozesa mu kusinza Mukama.”
27Naye Mukama nʼakakanyaza omutima gwa Falaawo, nʼatabaleka kugenda.
28Falaawo nʼagamba Musa nti, “Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ngʼokomyewo wʼendi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa.”
29Musa nʼaddamu nti, “Nga bwʼogambye, nange siriddayo kukulaba.”