Okuva 11:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo nʼensi yʼe Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bwʼanaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize.

2Kale, tegeeza abantu, buli musajja asabanga muliraanwa we, ne buli mukazi asabanga muliraanwa we, ebintu ebyʼomuwendo ebya ffeeza nʼebya zaabu.”

3Mukama nʼaleetera Abamisiri okukwanagana nʼabaana ba Isirayiri; ne Musa nʼaweebwa nnyo ekitiibwa mu nsi yʼe Misiri. Abakungu ba Falaawo nʼabantu bonna ne bamugulumiza nnyo.

4Awo Musa nʼagamba Falaawo nti, “Mukama agambye bwʼati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna.

5Ebibereberye mu nsi yʼe Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye wʼomuwala omuzaana asa ku lubengo;[12] era nʼebibereberye byonna ebyʼebisolo.

6Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana.

7Naye mu baana ba Isirayiri nʼembwa teribaayo gwʼeboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri nʼAbayisirayiri tabayisa bumu.’

8Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe nʼabantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lwʼebyo nange ndigenda.” Nʼava awali Falaawo nʼobusungu bungi nnyo.

9Mukama yali agambye Musa nti, “Falaawo tagenda kuwuliriza byʼomugamba, bwe ntyo ndyoke nkolere ebyamagero byange bingi mu Misiri.”

10Musa ne Alooni baakolera ebyamagero ebyo byonna awali Falaawo; naye Mukama yakakanyaza omutima gwa Falaawo, nʼatakkiriza baana ba Isirayiri kuva mu nsi ye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.