Okuva 12:1-51 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Mukama nʼayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi yʼe Misiri, nʼabagamba nti,

2“Okuva leero omwezi[13] guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe.

3Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti Ku lunaku olwʼekkumi olwʼomwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gwʼendiga ogwʼokuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gwʼendiga gumu.

4Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte nʼagʼomuliraano balye omwana gwʼendiga ogwo. Muligeraageranya obungi bwʼabantu abamalawo omwana gwʼendiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo.

5Omwana gwʼendiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gwʼendiga oba ogwʼembuzi.

6Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi guno; ekibiina kyonna ekyʼabantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi.

7Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gwʼoluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gwʼendiga.

8Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako nʼemigaati egitali mizimbulukuse nʼenva ezikaawa.

9Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu nʼebyʼomunda byonna.

10Temugiterekangako kutuusa nkeera; bwʼebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza.

11Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde nʼengatto zammwe[14], nga mukutte nʼomuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo yʼEmbaga eyʼOkuyitako kwa Mukama.

12“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi yʼe Misiri, abantu era nʼebisolo; era bakatonda bonna abʼomu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama.

13Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so nʼokuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.

14 “Olunaku luno lunaababeereranga lwa kijjukizo, era munaalukuumanga ne mulukwata nga lwa mbaga ya Mukama mu mirembe gyammwe gyonna egiriddiriŋŋana. Lino lifuuse tteeka eryʼemirembe gyonna.

15Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse[15] okumala ennaku musanvu; era ku lunaku olusooka, mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa mukiggiranga ddala mu nnyumba zammwe, kubanga alivumbulwa ngʼalidde omugaati ogulimu ekizimbulukusa, okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olwʼomusanvu, aligobebwa mu Isirayiri.

16Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, ne ku lunaku olwʼomusanvu munaabanga nʼolukuŋŋaana olutukuvu; ennaku ezo temuzikolerangako mulimu gwa ngeri yonna, okuggyako okufumba emmere abantu bonna gye banaalya, kye kyokka kye mujjanga okukola.

17“Mukwatanga Embaga eyʼEmigati Egitali mizimbulukuse, kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe naggyira ebika bya Isirayiri mu nsi yʼe Misiri. Noolwekyo olunaku luno munaalukwatanga nʼabʼomu mirembe gyonna egiriddawo. Ekyo kiragiro ekyʼemirembe nʼemirembe.

18Mu mwezi ogusooka, munaalyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa, okuva mu kawungeezi akʼolunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi, okutuusa ku lunaku olwʼamakumi abiri mu olumu olwʼomwezi ogwo.

19Okumala ennaku musanvu mu nnyumba zammwe temulabikangamu ekizimbulukusa; era alivumbulwa ngʼalidde ekintu kyonna omuli ekizimbulukusa, agenda kugobwa mu Isirayiri, ne bwaliba omuzaaliranwa oba omugwira.

20Temulyanga kintu kyonna omuli ekizimbulukusa; mu nnyumba zammwe mwe musula yonna, mulyanga emigaati egitali mizimbulukuse.”

21Awo Musa nʼayita abakulembeze ba Isirayiri bonna, nʼabagamba nti, “Mwerondere abaana bʼendiga ngʼamaka gammwe bwe gali, mutte omwana gwʼendiga ogwʼOkuyitako.

22Musibe bulungi akaddo kʼakakubansiri, mukannyike mu musaayi gwe mutadde mu bensani, mulyoke mumansire ku mwango gwʼoluggi waggulu, ne ku njuyi zombi ezʼomwango. Tewabaawo nʼomu afuluma ennyumba ye okutuusa ngʼobudde bukedde.

23 Kubanga Mukama ajja kuyita awo ngʼagenda okutta Abamisiri; kale bwʼanaalaba omusaayi ku mwango gwʼoluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi zʼoluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba za mmwe nʼokubatta.

24“Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ngʼetteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna.

25Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gyʼalibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno.

26Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’

27Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama ekyʼOkuyitako, kubanga yayita ku nnyumba zʼAbayisirayiri mu Misiri, nʼawonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza.

28Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.

29Awo ekiro mu ttumbi Mukama nʼatta ebibereberye byonna mu nsi yʼe Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali owʼokumusikira, okutuuka ku mubereberye wʼomusibe ali mu kkomera; era nʼente embereberye zonna.

30Falaawo nʼazuukuka mu kiro wakati, ye nʼabaweereza be bonna, nʼAbamisiri bonna; Misiri yonna nʼejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba nʼemu omutaafa muntu.

31Mu kiro ekyo Falaawo nʼatumya Musa ne Alooni nʼabagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze nʼabantu bange, mmwe nʼabaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba.

32Mutwale amagana gammwe nʼebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”

33Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!”

34Abaana ba Isirayiri ne baddira obuwunga bwabwe obwʼemigaati obugotte, obutaliimu kizimbulukusa, ne babussa mu bbakuli omufumbirwa emigaati, ne babuzinga mu ngoye zaabwe, ne babutwalira ku bibegabega byabwe.

35Baakola nga Musa bwe yabalagira, ne basaba Abamisiri ebyʼomuwendo ebya ffeeza nʼebya zaabu, awamu nʼebyambalo.

36Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.

37Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ngʼemitwalo nkaaga, ngʼabakazi nʼabaana tebabaliddwa.

38Waaliwo nʼabantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana gʼente mangi, nʼebisibo, bingi nnyo.

39Ne beefumbira emigaati mu buwunga obugotte bwe baggya mu Misiri, naye tegyalimu kizimbulukusa, kubanga baasindiikirizibwa busindiikirizibwa okuva mu Misiri, ne bataba na budde bwa kwefumbira mmere.

40 Emyaka abaana ba Isirayiri gye baamala mu Misiri gyawera ebikumi bina mu amakumi asatu.

41Ku lunaku olwasembayo olwaweza emyaka ebikumi ebina mu asatu, eggye lya Mukama eryo lyonna kwe lyasitulira ne liva mu nsi yʼe Misiri.

42Mukama yali bulindaala ekiro kyʼolunaku olwo, nʼaggya abaana ba Isirayiri mu nsi yʼe Misiri; noolwekyo abaana ba Isirayiri banajjukiranga Mukama ekiro kyʼolunaku olwo emirembe gyabwe gyonna.

43Awo Mukama nʼagamba Musa ne Alooni nti, “Bino byʼebiragiro byʼOkuyitako: “Omunaggwanga takkirizibwa kugiryako.

44Omuddu aguliddwa nʼensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa;

45naye omugenyi omugwira, nʼomupakasi akola awaka, tebakkirizibwa kugiryako.

46 “Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo nʼerimu.

47Abantu bonna aba Isirayiri banaakolanga omukolo guno.

48“Omunaggwanga abeera mu mmwe bwʼabanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gwʼOkuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ngʼomuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako.

49Etteeka lye limu lye linaakwatibwanga omuzaaliranwa nʼOmunnaggwanga abeera mu mmwe.”

50Bwe batyo abaana ba Isirayiri bonna ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni; bwe batyo bonna bwe baakola.

51Awo ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda nʼaggya abaana ba Isirayiri mu nsi eyʼe Misiri nga bagendera mu bibinja byabwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.