1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
2
3Awo Musa nʼagamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ngʼabaddu, kubanga Mukama yabaggyayo nʼomukono gwe ogwʼamaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.
4Ku lunaku lwa leero olwʼomwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri.
5Mukama bwʼalimala okubatuusa mu nsi yʼAbakanani, nʼAbakiiti, nʼAbamoli; nʼeyʼAbakiivi, nʼAbayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno.
6Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olwʼomusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama.
7Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika nʼomugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe.
8Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’
9Omukolo guno gunaababeereranga ngʼakabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati wʼamaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri nʼomukono gwe ogwʼamaanyi.
10Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.
11“Mukama ngʼamaze okubatuusa mu nsi yʼAbakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa,
12
13Buli kalogoyi
14“Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi eyʼobuddu, nʼomukono gwe ogwʼamaanyi.
15Naye Falaawo bwe yali ngʼakakanyadde ngʼatugaanye okuvaayo, Mukama nʼatta ebibereberye byonna mu nsi yʼe Misiri; ababereberye bʼabantu nʼebibereberye byʼebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama eyʼebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’
16Omukolo ogwo gunaababeereranga ngʼakabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati wʼamaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri nʼomukono gwe ogwʼamaanyi.”
17Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi yʼAbafirisuuti, newaakubadde lye lyali eryʼokumpi.
18Bwʼatyo Katonda nʼabeekooloobya ngʼabayisa mu kkubo eryʼomu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi yʼe Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.
19
20Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira.
21Emisana Mukama yabakulemberanga ngʼali mu mpagi eyʼekire okubalaga ekkubo, nʼekiro ngʼali mu mpagi eyʼomuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana nʼekiro.
22Empagi eyʼekire eyʼemisana, nʼempagi eyʼomuliro eyʼekiro tezaggibwawo mu maaso gʼabantu obudde bwonna.