1Awo Mukama nʼalagira Musa nti,
2“Tegeeza abaana ba Isirayiri bawetemu nga boolekera Pikakirosi, bakube eweema zaabwe okumpi ne Pikakirosi, wakati wa Migudooli nʼennyanja. Musiisire ku lubalama lwʼennyanja nga mwolekedde Baalizefoni.
3Falaawo abaana ba Isirayiri ajja kuboogerako nti, ‘Babulubuutira mu nsi yaffe, nʼeddungu libazingizza.’
4Nzija kukakanyaza omutima gwa Falaawo, alyoke abawondere. Naye ndyefunira ekitiibwa okuva ku bye ndikola Falaawo nʼeggye lye lyonna; nʼAbamisiri balitegeera nga nze Mukama.” Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo.
5Kabaka wʼe Misiri bwe yategeera ngʼAbayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo nʼabakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?”
6Bwʼatyo nʼateekateeka eggaali lye erisikibwa embalaasi, nʼeggye lyʼanaagenda nalyo.
7Yatwala amagaali lukaaga agasingira ddala obulungi, nʼagattako nʼamagaali amalala gonna agaali mu Misiri, nʼabalwanyi abaduumizi nga be bagavuga.
8Mukama nʼakakanyaza omutima gwa Falaawo Kabaka wʼe Misiri, nʼagoberera abaana ba Isirayiri. Abaana ba Isirayiri ne bakwata olugendo lwabwe nga tebaliiko gwe batya.
9Abamisiri ne babawondera: embalaasi zonna, nʼamagaali gonna aga Falaawo agasikibwa embalaasi, nʼabeebagadde embalaasi, nʼeggye lye, ne babasanga nga basiisidde ku lubalama lwʼennyanja okumpi ne Pikakirosi, nga boolekedde Baalizefoni.
10Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isirayiri ne balengera Abamisiri nga babagoberera, ne batya nnyo. Abaana ba Isirayiri ne balaajanira Mukama.
11Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri nʼojja otuyisa bwʼoti?
12Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”
13Musa nʼaddamu abantu nti, “Temutya, munywere, mujja kulaba obulokozi Mukama bwʼanaabaleetera olwa leero. Kubanga Abamisiri abo be mulaba kaakano, temuliddayo nate kubalaba emirembe gyonna.
14Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”
15Mukama nʼagamba Musa nti, “Lwaki okaabirira nze? Lagira abaana ba Isirayiri bakwate olugendo lwabwe.
16Wanika omuggo gwo, ogolole nʼomukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu.
17Nange nzija kukakanyaza emitima gyʼAbamisiri, bayingirire ennyanja nga babagoberera. Ndyoke nefunire ekitiibwa okusinziira ku bye nnaakola Falaawo, nʼamaggye ge, nʼamagaali ge, nʼabeebagadde embalaasi.
18Abamisiri nabo banaategeera nga nze Mukama, nga nefunidde ekitiibwa: okusinziira ku bye nnaakola Falaawo nʼamagaali ge, nʼabasajja be abeebagadde embalaasi.”
19Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri nʼakyuka nʼabadda emabega; nʼempagi eyʼekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, nʼeyimirira emabega waabwe:
20Bwʼetyo nʼebeera wakati wʼabaana ba Isirayiri nʼeggye lyʼAbamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lwʼAbamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lwʼAbayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo.
21Awo Musa nʼagolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama nʼasindika ku nnyanja embuyaga ezʼamaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ngʼamazzi gayawuddwamu.
22
23Abamisiri ne babawondera ne bayingira wakati mu nnyanja nʼamagaali ga Falaawo gonna, nʼembalaasi ze, nʼabasajja be abeebagadde embalaasi.
24Awo mu makya ennyo nga tebunnalaba, Mukama nʼatunuulira eggye lyʼAbamisiri ngʼali mu mpagi eyʼekire nʼomuliro, nʼatandika okulibonyaabonya.
25Amagaali gaabwe yagamaamulako zinnamuziga, ne gabakaluubirira okuvuga. Abamisiri nʼokugamba ne bagamba nti, “Leka Abayisirayiri tubadduke! Kubanga Mukama alwanyisa Misiri ngʼabalwanirira.”
26Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.”
27Bwʼatyo Musa nʼagololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya nʼekomawo nʼamaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri nʼabasaanyaawo wakati mu nnyanja.
28Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali nʼabeebagadde embalaasi, nʼeggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali nʼomu ku bo eyawona.
29Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono.
30Bwe kityo ku lunaku olwo Abayisirayiri Mukama nʼabawonya Abamisiri. Abayisirayiri ne balaba Abamisiri ku lubalama lwʼennyanja nga bafudde.
31Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ngʼakola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama nʼomuweereza we Musa.