Okuva 15:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Musa nʼabaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti, “Nnaayimbiranga Mukama, kubanga awangudde nʼekitiibwa kingi; Asudde mu nnyanja embalaasi nʼomwebagazi waayo.

2 Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange; Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga, ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.

3Mukama mulwanyi; MUKAMA, lyʼerinnya lye.

4Amagaali ga Falaawo nʼeggye lye abisudde mu nnyanja; Nʼabaduumizi bʼamaggye ge abalondemu basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.

5Obuziba bubasaanikidde; basse okutuuka ku ntobo ngʼejjinja.”

5

6“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwalina amaanyi nʼekitiibwa; omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwasesebbula omulabe.

7Mu bukulu obwʼekitiibwa kyo, wamegga abalabe bo, wabalaga obusungu bwo, ne bubasiriiza ngʼebisasiro.

8Omukka bwe gwava mu nnyindo zo, amazzi ne geetuuma; Amazzi gʼebuziba ne geekwata ngʼekisenge wakati mu nnyanja.”

8

9“Omulabe nʼayogera nti, ‘Ka mbagobe, mbakwate. Nnaagabana omunyago; mbeemalireko eggoga. Nnaasowolayo ekitala kyange, ndyoke mbazikirize.’

10Naye wakunsa embuyaga zo, ennyanja nʼebasaanikira. Bakka ngʼekyuma, ne basaanawo mu mazzi amangi agʼamaanyi.

11Ani akufaanana, Ayi Mukama, mu bakatonda bonna? Ani akufaanana, ggwe, Omutukuvu Oweekitiibwa, Atiibwa era atenderezebwa, akola ebyamagero?

12Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, ensi nʼebamira.”

12

13“Mu kwagala kwo okutaggwaawo, abantu be wanunula olibakulembera. Mu maanyi go, olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.

14Amawanga galikiwulira ne gakankana, ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.

15Abakungu bʼomu Edomu balitangaalirira nga batidde; abakulembeze abʼamaanyi aba Mowaabu balikankana; Abatuuze bʼomu Kanani baliggwaamu endasi.

16Okwesisiwala nʼentiisa biribajjira. Olwʼomukono gwo ogwʼamaanyi tebalinyega, balisirika ngʼejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama, okutuusa abantu bo, be wanunula, lwe baliyitawo.

17Olibayingiza nʼobassa ku lusozi lwo lwe weerondera, kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mwʼonoobeeranga, Ekifo kyo Ekitukuvu, kye weekolera, Ayi Mukama, nʼemikono gyo.

18Mukama anaafuganga emirembe nʼemirembe.”

19Embalaasi za Falaawo, nʼamagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama nʼakomyawo amazzi agʼennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja.

20Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, nʼakwata ekitaasa; nʼabakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina.

21Miryamu nʼabayimbira bwʼati nti,

21“Muyimbire Mukama, kubanga awangudde nʼekitiibwa kingi. Asudde mu nnyanja embalaasi nʼagyebagadde.”

22Awo Musa nʼakulembera Isirayiri, nʼabaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu lyʼe Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi.

23Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo yʼensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala.

24Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”

25Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama nʼamulaga ekitundu kyʼomuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa. Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino nʼetteeka, era nʼabagezesa

26ngʼagamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe nʼobwegendereza, ne mukola ebyo byʼalaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde nʼemu, ngʼezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

27Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi nʼebbiri, nʼenkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi nʼamazzi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.