1Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri nʼennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi yʼe Misiri.
2Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni.
3Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi yʼe Misiri, Mukama nʼatuttira eyo nʼomukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya zʼennyama, nʼemmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”
4
5Ku lunaku olwʼomukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere eyʼolunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana nʼeyʼennaku bbiri.”
6Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi yʼe Misiri:
7ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe bʼani mmwe okutwemulugunyiza?”
8Musa nʼayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bwʼanaabawa ennyama ne mulya, ate enkya nʼabawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe bʼani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
9Awo Musa nʼagamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”
10Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ngʼakyategeeza ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire.
11Mukama nʼayogera ne Musa, ngʼagamba nti,
12“Mpulidde okwemulugunya kwʼabaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, nʼenkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
13Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira.
14Omusulo nga gwamuse ngʼobudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ngʼomusulo ogukutte olwʼobunnyogovu obungi.
15
16Mukama alagidde bwʼati nti, ‘Buli muntu akuŋŋaanye gyʼanaamalawo. Buli muntu ali mu weema zammwe mumukuŋŋaanyize kilo bbiri.’ ”
17Abaana ba Isirayiri ne bakola nga bwe baalagirwa; abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, nʼabalala ntono.
18
19Musa nʼabagamba nti, “Tewabaawo omuntu nʼomu agifissaako okutuusa enkeera.”
20Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; nʼezaala envunyu, era nʼewunya. Musa nʼabasunguwalira.
21Buli nkya ne bakuŋŋaanyanga buli omu gye yayinzanga okulya nga anaagimalawo; naye akasana bwe kaayakanga nga kakazizza, nʼesaanuuka.
22Awo ku lunaku olwʼomukaaga ne bakuŋŋaanya emmere ya mirundi ebiri, ze kilo nnya buli muntu; abakulembeze bonna mu kibiina ne bajja ne bategeeza Musa.
23Nʼabagamba nti, “Mukama yalagidde bwʼati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ”
24Bwe batyo ne bagyeterekera okutuusa enkeera, nga Musa bwe yabalagira; nʼetewunya wadde okuzaala envunyu.
25Musa nʼabagamba nti, “Eyo mugirye leero, kubanga leero ye Ssabbiiti ya Mukama, ku ttaka temujja kusangako mmere.
26Mu nnaku omukaaga mujjanga kugikuŋŋaanya, naye ku lunaku olwʼomusanvu, olwa Ssabbiiti, emmere teebeerengawo.”
27Naye era abamu ku bantu baafuluma ku lunaku olwʼomusanvu bagikuŋŋaanye, naye tebaasangayo kantu.
28Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Mulituusa ddi nga mukyajeemera ebiragiro byange?
29Mutegeere nga Mukama abawadde Ssabbiiti; ku lunaku olwʼomukaaga kyava abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu abeerenga mu maka ge nga tafulumye nʼakatono ku lunaku olwʼomusanvu.”
30Abantu bwe batyo ne bawummula ku lunaku olwʼomusanvu.
31Abʼomu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga “Maanu”. Yali efaanana ngʼakasigo ka koliyanda, nga njeru; ngʼewoomerera ngʼobusukuuti obufumbiddwa nʼomubisi gwʼenjuki.
32Musa nʼagamba nti, “Mukama alagidde bwʼati nti, ‘Muddire akabakuli aka kilo bbiri mukajjuze maanu mugiterekere abʼemirembe egigenda okujja; balyoke balabe ku mmere gye nabaliisanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi yʼe Misiri.’ ”
33Musa nʼagamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe abʼemirembe egigenda okujja.”
34Bwʼatyo Alooni nʼateeka maanu awali Endagaano, ekuumirwe awo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
35Abaana ba Isirayiri ne balya maanu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi omuli abantu. Baalya maanu
36Oma