1Awo ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ngʼekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa.
2Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa nʼabaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”
3Naye abantu ennyonta yʼamazzi nʼebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe nʼabaana baffe nʼebisibo byaffe?”
4Musa nʼakaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”
5Mukama nʼaddamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; nʼomuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ngʼogukutte mu mukono gwo, mutambule.
6Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa nʼakola bwʼatyo nga nʼabakulembeze ba Isirayiri balaba.
7Ekifo ekyo nʼakituuma erinnya Masa ne Meriba, olwʼokuyomba kwʼabaana ba Isirayiri, nʼolwʼokugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”
8Awo Abamaleki
9Musa nʼagamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko yʼolusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”
10Yoswa nʼakola nga Musa bwe yamulagira, nʼalwana nʼAbamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko yʼolusozi.
11Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba.
12Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, nʼatuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ngʼali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa.
13Yoswa nʼawangula Abamaleki ngʼakozesa obwogi bwʼekitala.
14
15Musa nʼazimbawo ekyoto nʼakituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange.
16Nʼagamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”