1Yesero, kabona wʼe Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, nʼawulira byonna Katonda bye yakolera Musa nʼabantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri.,
2Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ngʼamumulekedde,
3
4nʼerinnya lyʼomulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era nʼamponya ekitala kya Falaawo.”
5Yesero, mukoddomi wa Musa, nʼajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda.
6Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.”
7Awo Musa nʼafuluma nʼagenda okwaniriza mukoddomi we; nʼakutamako ngʼamulamusa, nʼamugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, nʼoluvannyuma ne bayingira mu weema.
8Musa nʼanyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo nʼAbamisiri ngʼabalanga Isirayiri; nʼebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.
9Yesero nʼasanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ngʼabanunula ku Bamisiri.
10Yesero nʼagamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gyʼAbamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, nʼaggya abantu be mu mikono gyʼAbamisiri.
11Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.”
12Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, nʼawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni nʼabakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.
13Awo bwe bwakya enkya, Musa nʼatuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi.
14Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, nʼamugamba nti, “Kiki kino kyʼokola? Lwaki olamula bwʼomu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?”
15Musa nʼaddamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda byʼayagala.
16Buli lwe babeera nʼobutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda nʼebiragiro bye.”
17Mukoddomi wa Musa nʼamugamba nti, “Kyʼokola si kirungi.
18Ggwe, nʼabantu bano bonna abajja gyʼoli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bwʼomu.
19Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ngʼali naawe. Osaana obeere omubaka wʼabantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe.
20Bayigirize amateeka nʼebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu nʼemirimu gye basaanidde okukola.
21Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ngʼobaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, abʼamazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ngʼabamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, nʼabalala abantu ebikumi, nʼabamu ebibiina ebyʼataano nʼabalala ebyʼekkumi kkumi.
22Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ngʼemisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bwʼomugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako.
23Singa okola bwʼotyo, nga ne Katonda bwʼakulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era nʼabantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”
24Musa bwʼatyo nʼawuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, nʼakolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira.
25Musa nʼalonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, nʼabafuula abakulembeze bʼabantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, nʼabalala ebikumi, nʼabamu amakumi ataano ataano, nʼabalala kkumi kkumi.
26Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.
27Awo Musa nʼasiibula mukoddomi we, mukoddomi we nʼakwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi yʼewaabwe.