1Mu mwezi ogwokusatu abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, ne batuuka mu Ddungu lya Sinaayi.
2Kubanga baali basitudde okuva mu Lefidimu ne bayingira Eddungu lya Sinaayi. Abayisirayiri ne basimba eweema zaabwe mu ddungu omwo mu maaso gʼolusozi Sinaayi.
3Awo Musa nʼayambuka eri Katonda; Mukama nʼamuyita ngʼasinziira ku lusozi ngʼagamba nti, “Bino byʼonoogamba ennyumba ya Yakobo, byʼonootegeeza abaana ba Isirayiri nti bwʼati bwʼayogera Mukama nti,
4‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro byʼempungu
5
6Munaabeeranga obwakabaka bwange obwa bakabona, era eggwanga ettukuvu.’ Ebyo bye bigambo byʼojja okutegeeza abaana ba Isirayiri.”
7Awo Musa nʼakomawo, nʼayita abakulembeze bʼabantu nʼabategeeza ebigambo ebyo byonna Mukama bye yamulagira.
8Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna Mukama byʼagambye, tujja kubikola.” Musa nʼategeeza Mukama ngʼabantu bwe baayogera.
9Mukama nʼagamba Musa nti, “Nzija kujja gyʼoli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa nʼategeeza Mukama abantu bye baayogera.
10Mukama nʼagamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero nʼenkya. Bagambe booze engoye zaabwe,
11ku lunaku olwokusatu babeere beetegefu, kubanga ku lunaku olwo Mukama alikka ku lusozi Sinaayi ngʼAbayisirayiri bonna balaba.
12
13Tajja kukwatibwako, wabula ajja kukubirwa ddala amayinja oba kufumitibwa. Omuntu tajja kulama, nʼebisolo tewaabeewo kirama.’ Akagombe bwe kanaamala okuvugira akabanga, olwo abantu ne balyoka bajja awali olusozi.
14Awo Musa nʼava ku lusozi nʼaserengeta eri abantu, nʼabatukuza ne bayoza engoye zaabwe.
15Nʼabagamba nti, “Mwetegekere olunaku olwokusatu, ne bakyala bammwe temubasemberera.”
16
17Musa nʼaggya abantu mu lusiisira nʼabaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi wʼolusozi.
18Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ngʼoguva mu kyoto, nʼolusozi lwonna ne lukankana nnyo.
19Eddoboozi lyʼakagombe bwe lyeyongera okuvuga nʼomwanguka ogwʼamaanyi, Musa nʼayogera, ne Katonda nʼamwanukula nʼeddoboozi eryʼokubwatuka.
20Awo Mukama nʼakka ku ntikko yʼOlusozi Sinaayi. Mukama nʼayita Musa agende ku ntikko yʼolusozi; Musa nʼalinnya.
21Mukama nʼagamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku Mukama, abantu bangi baleme kuzikirira.
22Ne bakabona, abasemberera Mukama, nabo basaana beetukuze, kubanga Mukama ayinza okubasaanyaawo.”
23Musa nʼaddamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ”
24Mukama nʼalagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona nʼabantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri Mukama, kubanga ayinza okubasaanyaawo.”
25Bwʼatyo Musa nʼaserengeta mu bantu nʼabategeeza.