1Awo olwatuuka omusajja owʼomu kika kya Leevi, nʼagenda nʼawasa omukazi, nga naye Muleevi.
2Omukazi oyo nʼaba olubuto nʼazaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, nʼamukwekera emyezi esatu.
3Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, nʼamufunira ekibaya ekyʼebitoogo, nʼakisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana nʼamuteeka omwo, nʼakissa mu bitoogo ku lubalama lwʼomugga Kiyira.
4Mwannyina wʼomwana nʼayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.
5Awo muwala wa Falaawo nʼaserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lwʼomugga; muwala wa Falaawo nʼalaba ekibaya mu bitoogo, nʼatuma omu ku bawala okukikima, nʼakireeta.
6Bwe yakisaanukulako, nʼalabamu omwana. Omwana yali akaaba, nʼamusaasira nnyo, nʼagamba nti, “Ono yʼomu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”
7Awo mwannyina wʼomwana nʼasembera, nʼagamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi wʼabaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?”
8Muwala wa Falaawo nʼamuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina wʼomwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana!
9Muwala wa Falaawo nʼagamba nnyina wʼomwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo nʼatwala omwana nʼamulera.
10
11
12Awo Musa nʼamagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, nʼakwata Omumisiri nʼamutta, nʼamukweka mu musenyu.
13Bwe yaddayo enkeera, nʼalaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. Nʼabuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?”
14Omusajja nʼamuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa nʼatya, nʼayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”
15Awo Falaawo bwe yakiwulira, nʼagezaako okutta Musa. Naye Musa nʼaviira Falaawo, nʼaddukira mu nsi ya Midiyaani;
16Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe.
17
18Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri,
19Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ngʼabasumba batujoogereza; yʼatusenedde nʼamazzi nʼanywesa ekisibo kyaffe.”
20Nʼabuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”
21Musa nʼakkiriza. Nʼabeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri nʼawa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we.
22Zipola nʼamuzaalira omwana owoobulenzi. Musa nʼamutuuma erinnya Gerusomu, ngʼagamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
23Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka wʼe Misiri nʼafa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olwʼobuddu bwe baalimu, nʼokukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.
24Katonda nʼawulira okusinda kwabwe. Katonda nʼajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.
25Katonda nʼatunuulira abaana ba Isirayiri, nʼategeera okubonaabona kwabwe.