8Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga.
9Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga,
10naye olunaku olwʼomusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo.
11Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu nʼensi, nʼennyanja, ne byonna ebibirimu, nʼawummulira ku lunaku olwʼomusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti nʼalutukuza.”
11
12“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama gyʼakuwadde.”
12
13“Tottanga.”
13
14“Toyendanga.”
14
15“Tobbanga.”
15
16“Towaayirizanga muntu munno.”
16
17ⓣ “Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omulenzi, newaakubadde omuweereza we omuwala, wadde ente ye oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
18ⓤ Awo abantu bwe baalaba okumyansa kwʼeraddu, ne bawulira nʼokubwatuka kwʼeggulu awamu nʼeddoboozi lyʼakagombe, ne balaba nʼolusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako,