Okuva 21:1-36 LGCB2014 - Bible AI

1Amateeka gano gabategeeze nti,

2“Bwʼogulanga omuddu Omwebbulaniya, akuweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogwʼomusanvu omuddizanga eddembe lye nʼagenda, era talisasuliranga.

3Bwʼaba nga yajja yekka, era agendanga yekka; naye bwʼaba nga yajja ne mukazi we, era agendanga naye.

4Mukama we bwʼabanga amuwadde omukazi, nʼamuzaalira abaana aboobulenzi nʼaboobuwala; omukazi nʼabaana babanga ba mukama wa muddu oyo; omusajja yekka ye yaddizibwanga eddembe lye.

5Naye omuddu bwʼagambanga nti, ‘Nze mukama wange mmwagala, ne mukazi wange nʼabaana bange bonna mbagala, era seetaaga ddembe,’

6mukama we amutwalanga eri abalamuzi, amuleetanga ku luggi oba ku mwango gwʼoluggi, nʼamuwummula okutu nʼolukato.[24] Olwo anaamuweerezanga okutuusa okufa.”

7“Omusajja bwʼanaatundanga omwana we owoobuwala ngʼomuddu, omuwala oyo taddizibwenga ddembe ngʼomuddu omusajja.

8Bwʼataasanyusenga mukama we eyamugula, anaayinzanga okununulibwa. Kyokka mukama we taabenga na buyinza kumutunda mu bannamawanga, kubanga mukama we yanaabanga amukuusizakuusiza okumala okumuwasa ate nʼamwegobako.

9Singa amugabira mutabani we, olwo anaabanga ngʼomu ku bawala be.

10Singa amuwasizaako omukazi omulala, mukama we taamuggyengako mmere ye oba engoye ze, wadde ebimukwatako byonna ebyʼobufumbo.

11Ebintu ebyo ebisatu singa abimumma, omuwala omuddu anaayinzanga okuleka mukama we nʼamuvaako awatali kusasulirwa.”

12“Anaakubanga omuntu nʼamutta, naye ateekwa buteekwa okuttibwa.

13 Kyokka singa akikola nga tagenderedde, naye Katonda nʼakikkiriza okubaawo, anaddukanga ne yeekweka mu kifo kye ndibateekerateekera.

14Naye singa omuntu anaasalanga olukwe nʼalumba munne nʼamutta mu bugenderevu, bwʼanaabanga ku kyoto kyange, mumusikangako ne mumutwala ne mumutta.”

15“Akubanga kitaawe oba nnyina, ateekwa buteekwa okuttibwa.”

16“Oyo awambanga omuntu nʼamutunda oba nʼakwatibwa naye nga tannamutunda attibwanga buttibwa.”

17 “Anaakolimiranga kitaawe oba nnyina ateekwa kuttibwa.”

18“Abantu singa bayomba ne balwana, omu nʼakuba munne ejjinja oba ekikonde, nʼatafa wabula nʼabeera ku kitanda;

19singa ava ku kitanda, nʼatandika nʼokutambulako ebweru nʼomuggo gwe, oli eyamukuba taavunaanibwenga; wabula anaasasuliranga ebiseera byʼoyo gwe yakuba, era nʼamujjanjaba okutuusa ngʼawonedde ddala.”

20“Omuntu bwʼanaakubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi nʼomuggo, omuddu oyo emiggo ne gimutta, omusajja oyo anaabonerezebwanga;

21naye omuddu oyo bwʼanaalamanga okumala olunaku oba ennaku ebbiri, mukama we taabonerezebwenga, kubanga ye nannyini ye.”

22“Singa abantu babadde balwana, ne bakubiramu omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, kyokka nʼatabaako mutawaana mulala gwonna, oyo amukubye anaatanzibwanga omutango bba wʼomukazi gwʼanaasalanga, era nga nʼabalamuzi bagukkirizza.

23Naye singa omukazi oyo abaako omutawaana ogwʼamaanyi, ekibonerezo kineenkanaakananga nʼekyo kyʼamukoze. Bwʼanattanga anattibwanga,

24 bwʼanaaggyangamu eriiso lya munne, nʼerirye banaaligyangamu, oba omuntu bwʼanaaggyangamu erinnyo lya munne, nʼerirye banaalikuulangamu, bwʼanaamutemangako omukono, nʼogugwe banaagutemangako, bwʼanaamutemangako ekigere, nʼekikye banaakitemangako,

25bwʼanaamwokyanga, naye anaayokebwanga, bwʼanaamussangako ekiwundu, naye anaassibwangako ekiwundu, bwʼanaamunuubulanga, naye anaanuubulwanga.”

26“Omuntu bwʼakubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, nʼamuggyamu eriiso, anaamuddizanga eddembe lye nʼamuleka nʼagenda, nga kwe kumuliyira olwʼeriiso eryo.

27Singa akuba omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, nʼamukuulamu erinnyo, anaamuddizanga eddembe lye, nga kwe kumuliyira olwʼerinnyo eryo.”

28“Singa ente ya seddume etomera omusajja oba omukazi nʼemutta, seddume eyo eteekwa okukubwanga amayinja nʼefa, nʼennyama yaayo teriibwanga. Kyokka nannyini yo taabengako musango.

29Naye seddume eyo singa emanyiddwa nga bulijjo ntomezi, era nga ne nannyini yo yalabulwako dda, kyokka nʼatagisibira mu lugo lwayo, nʼetta omusajja oba omukazi, eneekubwanga amayinja nʼefa, ne nannyini yo anattibwanga.

30Naye singa asalirwa engassi, aneenunulanga nʼawona okufa ngʼasasuddeyo kyonna ekinaabanga kimusaliddwa.

31Seddume bwʼeneetomeranga mutabani wʼomuntu oba muwala we, etteeka lye limu eryo lye linaakozesebwanga.

32Seddume bwʼetomeranga omuddu omusajja oba omuddu omukazi, nannyini yo ateekwa okusasula mukama wʼomuddu oyo, ebitundu bya ffeeza amakumi asatu,[25] ne seddume ekubwenga amayinja efe.”

33“Omuntu bwʼanaabikkulanga ekinnya nʼakireka nga kyasamye, oba bwʼanaasimanga ekinnya nʼatakisaanikirako, seddume nʼekigwamu oba endogoyi,

34nannyini kinnya anaasasuliranga okufiirwa okwo; anaasasulanga nannyini nsolo efudde, era nʼokugitwala anaagitwalanga.”

35“Seddume yʼomuntu bwʼeneerumyanga seddume yʼomulala, nʼemala egitta; banaatundanga seddume ennamu, ensimbi ne bazigabana; ne seddume enfu nayo banaagigabananga.

36Oba singa seddume eyo ngʼemanyiddwa nga ntomezitomezi, naye nannyini yo nga tagiggalira mu lugo lwayo, ateekwa asasule seddume olwa seddume, yo enfu eneebanga yiye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.