Okuva 22:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1“Omuntu bwʼanabbanga ente ya munne, oba endiga, nʼagitta oba nʼagitunda; anazzangawo ente ttaano olwʼemu gyʼabbye, nʼendiga nnya olwʼendiga emu.

2“Omubbi bwʼanaakwatibwanga ngʼamenya ennyumba, nʼakubibwa emiggo nʼafa; amukubye taabengako musango olwʼokuyiwa omusaayi gwʼomubbi oyo;

3naye singa ebyo bigwawo ngʼenjuba emaze okuvaayo, anaabangako omusango olwʼokuyiwa omusaayi ogwo. Omubbi anaateekwanga okuliwa; naye bwʼabanga talina kantu, anaatundibwanga alyoke asasulire bye yabba.

4“Omubbi singa akwatibwa lubona nga nʼensolo gyʼabbye agirina nnamu, oba nte, oba ndogoyi oba ndiga, anazzangawo bbiri bbiri.

5“Omuntu bwʼanaabanga alunda ebisolo bye mu ddundiro lye oba mu nnimiro ye eyʼemizabbibu, ensolo ze nʼazireka ne zigenda ziriira mu nnimiro yʼomuntu omulala; anaasasulanga ku bibala ebisinga obulungi nʼezabbibu ebiva omumwe.

6“Omuliro bwe gunaalandanga ne guyita mu bisaka[26] ne gukwata ennimiro yʼomuntu, ne gwokya ebinywa byʼeŋŋaano, oba eŋŋaano ekyakula, oba ne guzikiriza ennimiro ye yonna; eyakumye omuliro ogwo anaasasuliranga byonna ebyonoonese.

7“Omuntu bwʼanaateresanga munne ensimbi oba ebintu bye ebirala, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bwʼanaakwatibwanga anaaliwanga emirundi ebiri.

8Naye omubbi bwʼataakwatibwenga, nannyini nnyumba ateekwa agende eri abalamuzi, basalewo obanga ebintu bya munne ye yabitutte.

9Mu buli misango gyonna egyʼokubeera nʼebintu mu ngeri emenya amateeka, ngʼokubeera nʼente, oba endogoyi, oba endiga, oba ekyambalo, oba ekintu ekirala kyonna ekinaabanga kibuze, omuntu nʼamala akyogerako nti, ‘Kino kyange,’ omuntu akirina nʼoyo akiyita ekikye banaatwalanga ensonga zaabwe eri abalamuzi. Oyo abalamuzi gwe banaasaliranga nti Gumusinze, anaddizangawo munne emirundi ebiri.

10“Omuntu bwʼanaateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala yonna; nʼemala efa, oba nʼerumizibwa, oba nʼetwalibwa nga tekitegeerekese agitutte,

11ensonga zaabwe zinaagonjoolwanga nga eyatereka alayidde mu maaso ga Mukama nti ensolo eyo si ye yagibba. Nannyini nsolo ateekwanga okukkiriza ekirayiro ekyo, era taasasulwenga kintu kyonna.

12Naye bwʼeneemubbibwangako, anaagiriwanga.

13Bwʼeneebanga erumbiddwa ensolo enkambwe nʼetaagulwataagulwa, anaaleetanga ebitundutundu byayo ebisigaddewo ngʼobujulizi; taaliwenga nsolo etaaguddwataaguddwa.

14“Omuntu bwʼaneeyazikanga ensolo ku muliraanwa we, nʼerumizibwa, oba nʼemufaako nga nnyini yo taliiwo, anaateekwanga okugisasulira.

15Naye nannyini yo bwʼanaabangawo, taaliyirwenga. Ensolo ngʼebadde epangisibbwa bupangisibwa, omuwendo ogugipangisizza gunaamalanga mu kugisasulira.”

16 “Omusajja bwʼanaasendasendanga omuwala omuto akyali embeerera, ne yeebaka naye, atwalengayo ebintu ebyobuko, amuwase.

17Naye singa kitaawe wʼomuwala agaanira ddala okumumuwa, era asasulangayo omuwendo gwʼensimbi ogwenkanankana nʼebyʼobuko ebiweebwayo ku mbeerera.

18“Omukazi omulogo omuttanga bussi.

19“Omuntu akola ebyʼensonyi nʼensolo ateekwanga kuttibwa.

20“Omuntu atwalanga ssaddaaka eri katonda omulala, atali nze Mukama, azikirizibwenga.

21“Bannamawanga temubayisanga bubi, so temubanyigirizanga, kubanga nammwe mwali bannaggwanga mu nsi yʼe Misiri.

22“Nnamwandu ne mulekwa temubajooganga.

23Bwe munaabajooganga ne bankaabira, nnaabawulirizanga.

24Obusungu bwange ne bubuubuuka, mmwe ne mbatta nʼekitala. Bakyala bammwe ne bafuuka bannamwandu nʼabaana bammwe bamulekwa.

25“Bwʼowolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ngʼali mu kwetaaga, teweeyisanga ngʼabawozi bʼensimbi abalala; tomusasuzanga magoba.

26Bwʼotwalanga ekyambalo kyʼomuntu ngʼakakalu, kimuddize ngʼenjuba egenda okugwa;

27kubanga ekyambalo kye ekyo kye kyʼokwebikka kye kyokka kyʼalina. Kale bwʼotokimuddiza olwo asule mu ki? Bwʼanankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.

28“Tovumanga Katonda, wadde okwogera obubi ku bafuzi bammwe.

29“Tolwangawo kuwaayo ku bibala ebibereberye nga byengedde. “Mutabani wo omubereberye onoomumpanga.

30Ente zo nʼendiga zo nazo onookolanga bwʼotyo. Onoozirekeranga bannyina baazo okumala ennaku musanvu; onoozimpanga ku lunaku olwʼomunaana.

31“Mujjanga kuba bantu bange batukuvu. Noolwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo etaaguddwataaguddwa ebisolo ebyʼomu nsiko. Munaagirekeranga mbwa.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.