Okuva 23:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1“Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ngʼowa obujulirwa obwʼobulimba bulyoke bumuyambe.

2“Tokolagananga na kibiina kyʼomanyi nga bye kiriko bikyamu. Bwʼobanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obwʼobulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko;

3era towanga bujulirwa bukyamu oyambe omuntu yenna olwokubanga mwavu.

4“Bwʼosanganga ente yʼomulabe wo, oba endogoyi ye, ngʼebuzze ogimuddizangayo eka.

5Bwʼolabanga endogoyi yʼomuntu atakwagala, ngʼomugugu gugisudde wansi, togirekanga, naye omuyambangako okugiyimusa.

6“Tolemanga kusalirawo muntu nsonga ze mu bwenkanya, olwokubanga mwavu.

7Teweeyingizanga mu nsonga za bulimba, era tottanga muntu atalina kibi oba atazzizza musango, kubanga aliko omusango sigenda kumwejjeereza.

8“Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba omuntu amaaso nʼekyamya nʼabatuukirivu.

9“Temuwalagganyanga munnaggwanga, kubanga mmwe bennyini mumanyi nga bwe kiri okuba bannaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi yʼe Misiri.

10“Mu myaka omukaaga osigirangamu emmere yo mu nnimiro zo era nʼogikungula;

11naye mu mwaka ogwʼomusanvu ettaka olirekanga ne liwummula, abaavu mu mmwe basobolenga okulya ku mmere okuva mu bimererezi; eneefikkangawo ebisolo byʼomu nsiko binaagiryanga. Era bwʼotyo bwʼonookolanga nʼennimiro zo ezʼemizabbibu nʼezʼemizeeyituuni.

12“Mu nnaku omukaaga mwʼokoleranga emirimu gyo, naye ku lunaku olwʼomusanvu tokolanga, ente yo nʼendogoyi yo ziryoke zisobole okuwummulako; ne mutabani wʼomuweereza wo, ne munnaggwanga ali mu maka go bawummuleko baddemu endasi.

13“Weegenderezanga nʼokolanga byonna bye nkulagidde. Bakatonda abalala toboogerangako, era amannya gaabwe tegayitanga mu kamwa ko.

14“Ononkoleranga embaga emirundi esatu buli mwaka.

15“Onookolanga Embaga eyʼEmigaati Egitali Mizimbulukuse. Onoolyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu, nga bwe nakulagira. Kino okikolanga mu kiseera ekyategekebwa, mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi ogwo mwe waviira mu nsi yʼe Misiri. “Tewabangawo ajja gye ndi engalo ensa.

16“Onookolanga Embaga eyʼAmakungula[27] eyʼebibala ebibereberye ebyʼebirime bye wasiga mu nnimiro yo. “Onookolanga Embaga eyʼAmayingiza[28] buli nkomerero ya mwaka, bwʼonookuŋŋaanyanga ebibala byo mu nnimiro, nʼobiyingiza.

17“Abasajja bonna banajjanga awali Mukama Katonda emirundi egyo esatu buli mwaka.

18“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; nʼamasavu aga ssaddaaka yange tegasulangawo kutuusa nkeera.

19 “Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbanga akaana kʼembuzi mu mata ga nnyina waako.[29]

20“Laba, ntuma malayika akukulembere, akutuuse bulungi mu kifo kye nteeseteese.

21Omuwulirizanga, era ogonderanga byʼagamba. Tomujeemeranga; bwʼolijeema tagenda kukusonyiwa, kubanga aliba akola mu Linnya lyange.

22Naye bwʼonoowulirizanga eddoboozi lye, nʼokola nga bwe ŋŋamba, kale nnaakyawanga abakukyawa, nʼabalabe bo banaabanga balabe bange.

23Malayika wange alikwesooka mu maaso akukulemberenga akutuuse mu nsi yʼAbamoli, ne mu yʼAbakiiti, ne mu yʼAbaperezi, ne mu yʼAbakanani, ne mu yʼAbakiivi, ne mu yʼAbayebusi, nange ndibazikiririza ddala.

24Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, era tokwatanga mpisa zaabwe, wabula obabetetaranga ddala, nʼomenyaamenya nʼempagi zaabwe.

25Oweerezanga Mukama Katonda wo yekka, emmere yo nʼamazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe;

26tewaabengawo mugumba wadde avaamu olubuto. Ennaku zʼobulamu bwo zonna nnaazituukirizanga.

27“Nnaasindikanga ekikangabwa mu mawanga agaagala okukwolekera, ne ntabulatabula abo bonna abanaakwegezangamu, era abalabe bo nnaabafuumuulanga emisinde.

28Ndisindika ennumba ne zikukulembera, ne zigoba Abakiivi, nʼAbakanani, nʼAbakiiti ne bakuviira mu kkubo lyo.

29Naye mu nsi omwo siribagobamu mu mwaka gumu, ebikande bireme kusukkirira, nʼensolo ezʼomu nsiko ne zaala ne zibayitirira obungi.

30Nzijanga kubagobamu mpola mpola, okutuusa nga mwaze ne mulyoka mulya ensi eyo.

31“Ndisala ensalo zammwe okuva ku Nnyanja Emyufu okutuuka ku Nnyanja yʼAbafirisuuti, nʼokuva ku ddungu okutuuka ku Mugga Fulaati. Abantu bʼomu nsi omwo ndibabawa, ne mubagobamu.

32Temukolanga nabo ndagaano, wadde ne bakatonda baabwe.

33Temubakkirizanga kubeera mu nsi yammwe, tebalwa kubanyoomesa biragiro byange; kubanga singa muweereza bakatonda baabwe muliba mugudde mu mutego.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.