1Awo Mukama nʼalagira Musa nti, “Mwambuke eno gye ndi, ggwe ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, nʼabakulembeze ba Isirayiri nsanvu. Musinze nga mwesuddeko akabanga,
2Musa yekka yʼanaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.”
3Musa nʼajja nʼategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu nʼamateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama byʼagambye tunaabikola.”
4Bwʼatyo Musa nʼawandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera.
5Nʼatuma abasajja abavubuka Abayisirayiri, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ne ssaddaaka eyʼemirembe eyʼente.
6Musa nʼaddira ekitundu kyʼomusaayi nʼakissa mu mabeseni, nʼekitundu ekirala nʼakimansira ku kyoto.
7Nʼasitula Ekitabo kyʼEndagaano, nʼakisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna Mukama byʼagambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.”
8
9Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, nʼabakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka;
10ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi wʼebigere bye nga waliwo ngʼomwaliiro ogwʼamayinja ga safiro, agalabika obulungi ngʼeggulu eritaliiko bire.
11Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.
12Mukama nʼagamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande ebyʼamayinja okuli amateeka gʼempandiise ogayigirize abantu.”
13Awo Musa nʼasituka nʼomuweereza we Yoswa; Musa nʼayambuka ku lusozi lwa Katonda.
14Nʼagamba abakulembeze bʼabantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba nʼensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”
15Awo Musa nʼalinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka.
16Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olwʼomusanvu Mukama nʼayita Musa ngʼasinziira wakati mu kire.
17Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ngʼomuliro ogwʼamaanyi ennyo ku ntikko yʼolusozi.
18Musa nʼayingira mu kire ngʼagenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.