1Mukama nʼayogera ne Musa nti,
2“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ngʼokuteesa kwʼomutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.
3Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa: zaabu, ffeeza, ekikomo;
4olugoye olwa bbululu, nʼolwa kakobe, nʼolumyufu, nʼolwa linena ennungi; obwoya bwʼembuzi,
5amaliba gʼendiga ennume agasiigiddwa langi emyufu, nʼamaliba gʼente eyʼomu nnyanja; embaawo zʼomuti gwa akasiya;
6amafuta agʼomu ttaala; ebyʼobuloosa ebyʼokussa mu mafuta agʼokusiiga, nʼobubaane obwʼokunyookeza;
7amayinja onuku agʼomuwendo, nʼamayinja agʼokutona ku kkanzu eyʼobwakabona, ne ku kasawo kʼomu kifuba aka kabona;
8bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo.
9Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu nʼebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.
10“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu nʼobugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
11Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu.
12Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ngʼempeta ebbiri ziri ku ludda olumu, nʼendala ebbiri ku ludda lwayo olulala.
13Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu.
14Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko.
15Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu.
16Mu ssanduuko omwo mwʼonossa Amateeka ge nnaakuwa.
17
18Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ezʼekisaanikira.
19Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olwʼekisaanikira, nʼekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu nʼekisaanikira.
20Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira.
21Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko ekyʼEndagaano eyʼAmateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko.
22Awo waggulu wʼekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko eyʼEndagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
23“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, nʼobugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
24Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna.
25Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, nʼomuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo.
26Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana.
27Empeta zijja kubeera waggulu okumpi nʼomuge, emisituliro gyʼemmeeza mwe ginaayisibwa.
28Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kwʼeneesitulirwanga.
29Era ogikolere essowaani eza zaabu, nʼebijiiko ebya zaabu, nʼensuwa eza zaabu, nʼebibya ebya zaabu ebyʼokufukanga ebiweebwayo.
30
31“Okole ekikondo kyʼettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo nʼenduli, ebikopo ebifaanana ngʼebimuli, amatabi nʼemitunsi nʼebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba.
32Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, nʼamalala asatu nga gali ku ludda olulala.
33Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo kyʼettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ngʼebimuli byʼalumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi nʼekimuli.
34Ku kikondo kyʼettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli byʼalumondi nga mulimu emitunsi nʼebimuli.
35Omutunsi gumu gujja kuba wansi wʼamatabi abiri agava ku kikondo, nʼomutunsi ogwokubiri gubeere wansi wʼamatabi abiri amalala, nʼomutunsi ogwokusatu gubeere wansi wʼamatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo.
36Emitunsi nʼamatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba nʼekikondo kyʼettaala.
37“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo.
38Makansi ezikomola entambi, nʼessowaani ezʼokussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere.
39Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo kyʼettaala ne byonna ebigenderako.
40