1“Onookola Weema nʼemitanda gyʼentimbe kkumi, nga girukiddwa mu wuzi eza linena omulebevu alangiddwa nʼewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu. Omutunzi owʼamagezi ennyo akoleremu bakerubi.
2Emitanda gyʼentimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri nʼekitundu, nʼobugazi mita emu ne desimoolo munaana.
3Emitanda gyʼentimbe etaano onoogigatta wamu, ngʼogisengese gumu ku gunnaagwo, era ne ginnaagyo ettaano ogikole bwʼotyo.
4Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gwʼomutanda gwʼentimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu ekyʼentimbe ettaano, era okole bwʼotyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri.
5Otunge eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gwʼentimbe ogumu, nʼeŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gwʼomutanda gwʼentimbe mu kitundu ekikomererayo, eŋŋango ezo nga zoolekaganye.
6Okole ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okwase wamu emitanda gyʼentimbe gyombi nʼebikwaso ebyo, olwo Eweema ya Mukama ebeere wamu nga nnamba.
7“Okole entimbe kkumi na lumu nga zilukiddwa mu bwoya bwʼembuzi, ozibikke ku Weema.
8Entimbe zonna ekkumi nʼolumu zijja kwenkanankana obunene: ngʼobuwanvu mita kkumi na ssatu nʼekitundu, nʼobugazi mita emu ne desimoolo munaana.
9Ogatte entimbe ttaano wamu, nʼentimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olwʼomukaaga oluwetemu mu maaso gʼEweema.
10Ojja kutunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gwʼomutanda gwʼentimbe ogukomererayo mu kitundu kyʼentimbe ekimu, ne ku mukugiro gwʼolutimbe olukomererayo mu kitundu ekyokubiri.
11Okole ebikwaso ebyʼekikomo amakumi ataano, obiyise mu ŋŋango, bikwate ekibikka ku Weema, ebeere wamu nga nnamba.
12Ekitundu kyʼentimbe ekisigaddewo ku masuuka gʼebibikka ku Weema kijja kuleebeetera emabega wa Weema.
13Entimbe zʼekibikka ku Weema mu mbiriizi zombi ziyise Eweema ya Mukama kitundu kya mita emu mu buwanvu. Ebitundu bino byombi bijja kuleebeetera mu mbiriizi zombi eza Weema nga bigibisse.
14Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako ekyʼamaliba gʼendiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba gʼente eyʼomu nnyanja.
15“Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gwʼEweema kweneetuula.
16Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya nʼekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
17Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye nʼembaawo zonna. Embaawo zonna ezʼomudaala gwʼEweema ya Mukama ozikole bwʼotyo.
18Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olwʼobukiikaddyo obwʼEweema,
19era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi wʼobubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
20Ku ludda olwa bukiikakkono olwʼEweema ya Mukama okolereyo embaawo amakumi abiri,
21nʼentobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo.
22Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olwʼemabega, lwe lwʼebugwanjuba bwa Weema;
23era okole embaawo bbiri ezʼokussa ku nsonda ku ludda olwo.
24Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze nʼempeta.
25Kwe kugamba nti Wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, nʼentobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.
26“Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ezʼokukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu,
27ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olwʼemabega wa Weema olwʼebugwanjuba.
28Omulabba guyite wakati wʼembaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala.
29Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu.
30Eweema ya Mukama onoogizimba ngʼogoberera ekifaananyi ekyakulagibwa ngʼoli ku lusozi.
31“Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi.
32Oliwanike nʼamalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza.
33
34Onosse ekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira ku Ssanduuko eyʼEndagaano munda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo.
35Oddire emmeeza ogisse ku ludda olwa ddyo mu kisenge ebweru wʼeggigi mu Weema, nʼettaala ogisse ku ludda olwa kkono ngʼeyolekedde emmeeza.
36“Okole olutimbe lwʼomu mulyango gwʼEweema ya Mukama mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa omulungi; nga byonna bitungiddwa bulungi.
37Olutimbe olukolere empagi ttaano ngʼozibazze mu muti gwa akasiya, ozibikkeko zaabu, nʼamalobo gaalwo gabe zaabu; ogiweeseze entobo ttaano ezʼekikomo.”