1“Bino byʼonookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, nʼendiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo.
2Era onookola mu buwunga bwʼeŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole nʼamafuta agʼomuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, nʼobusukuuti obwʼoluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta agʼomuzeeyituuni.
3Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu nʼente nʼendiga ebbiri.
4Leeta Alooni ne batabani be ku mulyango gwʼEweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa, obanaaze nʼamazzi.
5Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, nʼekyambalo ekiri ngʼekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi, nʼekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi, nʼekyomukifuba, omusibeko omusipi gwʼekkanzu eyʼobwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa nʼamagezi amangi;
6omusibe nʼekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala ekyʼoku mutwe.
7Ddira amafuta agʼokwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule.
8Leeta batabani be obambaze amakooti,
9obasibeko emisipi, obambaze nʼenkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ngʼekiragiro bwe kigamba. Bwʼotyo bwʼonooyawula Alooni ne batabani be.
10“Onooleeta ente eyo ento mu maaso gʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe,
11nʼolyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
12Onoddira omusaayi ogwʼente eyo omutonotono, nʼogusiiga nʼolugalo lwo ku mayembe agʼoku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi wʼekyoto.
13Onoddira amasavu gonna agʼoku byenda nʼogabikka ku kibumba nʼensigo zombi nʼamasavu gaazo, obyokere ku kyoto.
14Naye ennyama yʼente eyo nʼeddiba lyayo, nʼobusa bwayo, byokere ebweru wʼolusiisira. Ekyo kyʼekiweebwayo olwʼekibi.
15“Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gwʼendiga emu;
16otte endiga eyo, nʼoddira omusaayi gwayo nʼogumansa buli wantu ku kyoto.
17Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze ebyʼomunda byayo nʼamagulu gaayo; obisse wamu nʼebifi nʼomutwe,
18
19“Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo;
20onoogitta, nʼoddira ku musaayi gwayo nʼogusiiga ku kasongezo kʼokutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bwʼamatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu byʼemikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola.
21Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta agʼokwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bwʼatyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu nʼebyambalo byabwe.
22“Onoggya ku ndiga eyo amasavu, nʼomukira omusava, nʼamasavu agabikka ebyʼomu lubuto ne ku kibumba, nʼensigo zombi awamu nʼamasavu agaziriko, nʼekisambi ekya ddyo; kubanga eyo yʼendiga eyʼokukozesa mu kwawula bakabona.
23Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta agʼomuzeeyituuni, nʼakasukuuti akʼoluwewere;
24ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ngʼekiweebwayo ekiwuubibwa.
25Onoobibaggyako, nʼobyokera ku kyoto ngʼobyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama; kye kiweebwayo eri Mukama ekyokye mu muliro.
26Era onoddira ekifuba kyʼendiga yʼokwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ngʼekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo.
27Onootukuza ekifuba ekyʼekiweebwayo ekiwuubibwa, nʼekisambi ekyʼekiweebwayo ekiwuubibwa, nʼekisambi ekyʼomugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga yʼokwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be.
28Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo kyʼabaana ba Isirayiri ekyʼemirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.
29“Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga.
30Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bwʼanajjanga mu Weema eyʼOkusisinkanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.
31“Ojja kuddira endiga yʼokwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu;
32Alooni ne batabani be balye ku nnyama yʼendiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema eyʼOkusisinkanirangamu.
33Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogwʼokusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu.
34Era singa ku nnyama yʼokwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.
35“Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bwʼonookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu;
36era buli lunaku ojja kuwaayo seddume yʼente emu ngʼekiweebwayo olwʼekibi, olwʼokusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olwʼokulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze.
37Ojja kumala ennaku musanvu ngʼowaayo ekiweebwayo olwʼokulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
38“Bino byʼonoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ezʼomwaka ogumu.
39Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo nʼogiwaayo akawungeezi.
40Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ezʼobuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ngʼemu eyʼamafuta ge zeyituuni, nʼoteekerako ne lita emu eya wayini nga kyʼekiweebwayo ekyokunywa.
41Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu nʼobuwunga nʼebyokunywa nga bwʼonooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa akʼekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
42“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe.
43Era awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange.
44“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu nʼekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona.
45Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe.
46Awo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi yʼe Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”