1Awo olwatuuka, Musa bwe yali ngʼalunda ekisibo kyʼendiga za mukoddomi we Yesero, kabona wʼe Midiyaani, nʼatwala ekisibo ku ludda olwʼebugwanjuba olwʼeddungu; nʼatuuka ku lusozi lwa Katonda
2
3Musa nʼayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, ekyʼekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
4Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda nʼamuyita ngʼasinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa nʼayitaba nti, “Nze nzuuno.”
5
6Ne yeeyongera nʼamugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.” Musa bwe yawulira ebyo nʼakweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
7
8Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi eryʼAbamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, yʼensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki; kaakano mwe muli Abakanani, nʼAbakiiti, nʼAbamoli, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi nʼAbayebusi.
9Kale mpulidde okukaaba kwʼabaana ba Isirayiri, era ndabye ngʼAbamisiri bwe bababonyaabonya.
10
11Naye Musa nʼagamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?”
12Katonda nʼamuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti Nze nkutumye: Bwʼolimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.”
13Awo Musa nʼabuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
14
15Katonda nʼayongera nʼagamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘MUKAMA, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, yʼantumye gye muli.’ Eryo lye linnya lyange eryʼolubeerera, era lye linnya lye nnajjuukirirwangako mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
16“Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, nʼaŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri.
17Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi yʼAbakanani, nʼAbakiiti, nʼAbamoli, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi, nʼAbayebusi; yʼensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki.’
18“Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza byʼogamba. Kale, ggwe nʼabakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda wʼAbaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’
19Naye mmanyi nga kabaka wʼe Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ngʼawalirizibbwa nʼamaanyi mangi.
20Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri nʼebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; nʼoluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.
21
22Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, nʼoyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza nʼebya zaabu, nʼengoye ezʼokwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”