1“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane.
2
3Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola.
4Wansi wʼomuge, mu mbiriizi zʼekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa.
5Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu.
6Ekyoto kitereeze mu maaso gʼeggigi awali essanduuko eyʼendagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe eyʼokusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.
7“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bwʼanajjanga okulongoosa ettaala.
8Era Alooni bwʼanajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.
9Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde ekyʼeŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo ekyʼekyokunywa.
10Alooni anaakolanga omukolo ogwʼokulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga nʼomusaayi ogwʼekiweebwayo olwʼekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”
11Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
12“Bwʼonoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gwʼonoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olwʼokununula obulamu bwe mu kiseera mwʼabaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu.
13
14Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku bʼemyaka amakumi abiri egyʼobukulu, nʼokweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama.
15Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, nʼomwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olwʼokwetangirira obulamu bwammwe.
16Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gyʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olwʼokwetangirira obulamu bwammwe.”
17Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
18“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne kyʼetuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati wʼekyoto nʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi.
19Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe nʼebigere byabwe.
20Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema eyʼOkusisinkanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye nʼomuliro,
21banaanaabanga engalo zaabwe nʼebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro ekyʼolubeerera eri Alooni nʼezzadde lye emirembe gyonna.”
22Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
23“Ddira ebyakawoowo bino ebyʼomuwendo: Kiro mukaaga ezʼomugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu;
24ne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ezʼamafuta gʼomuzeeyituuni; ngʼebipimo byʼobuzito bwʼomu Watukuvu bwe biri.
25Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu agʼokusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ngʼebikoleddwa omutabuzi wʼebyʼakawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu agʼokufukibwangako.
26Olyoke osiige nʼamafuta ago Eweema ya Mukama eyʼokusisinkanirangamu, nʼEssanduuko eyʼEndagaano,
27nʼemmeeza nʼebibeerako byonna, nʼekikondo kyʼettaala nʼebyakyo byonna, nʼekyoto ekyʼobubaane,
28nʼekyoto ekyʼekiweebwayo ekyokebwa nʼebikozesebwako, nʼebbensani ne kwʼetuula.
29Obyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
30“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona.
31Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu agʼokufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna.
32Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu.
33Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, nʼava mu bantu bʼewaabwe.’ ”
34Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino ebyʼomuwendo ennyo: sitakite, nʼonuka, ne galabano, nʼobubaane obuka, nga byenkanankana obuzito,
35Okolemu ebyakaloosa ebyʼomuwendo, bibe ngʼebikoleddwa omukugu wʼebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu.
36Onoggyako ekitundu nʼokisa ne kifuuka lufufugge, nʼokiteeka okwolekera Essanduuko eyʼEndagaano mu Weema ya Mukama eyʼOkusisinkanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gyʼoli.
37Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama.
38Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olwʼakaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, nʼava mu bantu bʼewaabwe.”