Okuva 31:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

2“Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, owʼomu kika kya Yuda;

3era mmujjuzza Omwoyo wa Katonda, nʼokumanya, nʼobusobozi nʼamagezi mu kukola ebitali bimu ebyemikono

4okutetenkanya ebintu ebinaakolebwa mu zaabu ne ffeeza nʼekikomo, nga bwe binaafaanana,

5okwola amayinja nʼokugategeka, nʼokwola emiti, era nʼokukola byonna ebyemikono ebya buli ngeri.

6Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, owʼomu kika kya Ddaani, okumuyamba. Era abakola ebyemikono mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:

7Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa, nʼEssanduuko eyʼEndagaano nʼekibikkako ekyʼentebe eyʼokusaasira, awamu nʼebikozesebwa byonna mu Weema ya Mukama,

8emmeeza nʼebigenderako, ekikondo ekya zaabu omuka ekyʼettaala nʼebigenderako, nʼekyoto ekyʼobubaane,

9nʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa nʼebigenderako, nʼebbensani ne kwʼetuula;

10nʼebyambalo ebyalukibwa obulungi, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona, nʼebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;

11nʼamafuta agʼokufukibwa, nʼebyakaloosa akalungi akʼomu Kifo Ekitukuvu. Byonna babikole nga bwe nakulagira.”

12Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

13“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.

14“ ‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe.

15 Emirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olwʼomusanvu ye Ssabbiiti eyʼokuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa.

16Noolwekyo abaana ba Isirayiri banaakumanga olunaku lwa Ssabbiiti, nga balujjukira mu mirembe gyabwe gyonna, ngʼendagaano etaggwaawo.

17Kanaabeeranga kabonero wakati wange nʼabaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Katonda yakola eggulu nʼensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olwʼomusanvu nʼalekeraawo okukola, nʼawummula.’ ”

18Awo Mukama bwe yamaliriza okwogera ne Musa ku lusozi Sinaayi, nʼawa Musa ebipande bibiri ebyʼamayinja, ebyʼEndagaano Katonda gye yawandiika nʼengalo ye, ye kennyini.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.